Amawulire

Sipiika akwasiddwa omumuli .

Ali Mivule

January 15th, 2014

No comments

 

Kadaga

Omumuli gw’emizanyo egyetabwaamu amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza gukwasiddwa sipiika  wa palamenti  Rebecca Kadaga akawungezi ka leero.

Omumuli guno gumukwasiddwa abakulira akakiiko akakola ku nsonga z’amawanga gano mu Uganda, omudusi Dorcus Inzikuru, awamu ne minisita w’emizanyo Jessica Alupo.

Kadaga wano w’asinzidde n’ategeeza nga palamenti bw’egenda okuwagira tiimu ya Uganda mu mizanyo gino mu by’ensimbi.

Amakya ga leero omumuli guno gusoose mu Bulange e mengo era nga gwaniriziddwa omubejja Joan Nasolo awamu ne Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Emizanyo gya Commonwealth Games gyakubeera mu kibuga Glasgow Scotland, wakati wa 23 omwezi gw’omusanvu ne 3 omwezi gw’omunana.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *