Amawulire

Abatuuze beekalakaasizza lwa nfuufu.

Ali Mivule

January 15th, 2014

No comments

 

Saracene=

Abatuuze ababeera ku luguudo lwe kiwologoma nga luno lw’eluva e Kira okudda e Kasangati bavudde mu mbeera ne beekalakaasa nga ssi kirala wabula nfuufu

Oluguudo olwogerwaako lukolebwaako kyokka nga teruyibwaako mazzi.

Akulira poliisi mu divizoni ye Kira, Robert Nkulega agamba nti batuuse mangu mu kitundu kino ng’embeera tennasajjuka

Ono agamba nti kkampui eyapatana omulimu guno eragiddwa okuyiwa amazzi era embeera n’edda mu nteeko

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *