Amawulire

Eby’eggaali biddamu nkya

Ali Mivule

March 10th, 2015

No comments

Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku nsonag z’eggaali y’omukka kakuddamu emirimu olunaku lw’enkya Akakiiko kano akakulirwa omubaka Eng Kafeero Sekitoleko kakusisinkana abakugu okuva mu kkampuni ya bugirimaani eya Gauff consultants Uganda Ltd. Eng Sekitoleko agamba nti bano beebasooka okwetegereza omulimu guno nga byebazuula zijja kubayamba nnyo […]

Eyali muk’omukulembeze w’eggwanga asibiddwa

Ali Mivule

March 10th, 2015

No comments

Eyali mukomukulembeze w’eggwanga lya Ivory Coast  Simone Gbagbo asibiddwa emyaka 20. Nakyaala ono avunanibwa kwetaba mu butabanguko obwali mu ggwanga lino oluvanyuma lw’okulonda kwa 2010. Mukyala Gbagbo abadde avunanibwa gwa kunyomoola byakwerinda bya ggwanga lino. Ono nga bw’atandika okumanyiira embeera y’ekkomera, yye bba era eyali […]

Ogw’ababaka gujulidde

Ali Mivule

March 10th, 2015

No comments

Okuwulira omusango gw’ababaka ba palamenti 4 abaagobwa mu kibiina kya NRM kugudde butaka olw’omu kubalamuzi Christine Kitumba okuba nga mukosefukosefu. Abana bano bawakanya ekya kkooti etaputa ssemateeka okubagoba mu palamenti oluvanyuma lw’ekibiina kyabwe okubanabira mu maaso. Bano kuliko  Theodore Sekikubo (Lwemiyaga), Muhammed Nsereko (Kampala Central), […]

Aba DP banasisinkana

Ali Mivule

March 10th, 2015

No comments

Ab’ekibiina Kya DP balangiridde olukungaana lw’abakakiiko akafuzi olw’okubeerawo okuva ku lwokuna okutuusa olwomukaaga lwa ssabbiiti eno. Ssabawandiisi w’ekibiina kino Matthias Nsubuga agamba baakuteesa ku birina okugobererwa nga betegekera okulonda kwa 2016 oluvanyuma bikakasibwe. Mu nsisinkano eno , baakuteesa ku ngeri gyebagenda okutegekamu akamyufu k’ekibiina era […]

Bunkenke e Kyambogo- abayiz beekalakaasizza

Ali Mivule

March 10th, 2015

No comments

Embeera ekyaali ya bunkenke ku ttendekero ly’e Kyambogo oluvanyuma lw’abamu ku bayizi okukeera okwekalakaasa. Akawungeezi akayise waliwo omuyizi eyafumitiddwa ekiso oluvanyuma lw’okulwanagana wakati w’abawagizi ba munna FDC  Julius Nsubuga ne Ian Kafoko owa NRM nga bano besimbye ku ky’obukulembeze bw’abayizi. Abayizi balumbye ekizimbe okutuula abatwala […]

Ebya Crest Foam biranze- bakukwatibwa

Ali Mivule

March 10th, 2015

No comments

Ebintu byongedde okwononekera abakulira ekkolero ly’emifaliso erya Crest Foam Minisita w’ebigwa tebiraze n’ebibamba  Hillary Onek alagidde abalikulira bonna bakwatibwe olw’omuliro ogwakutte nemufiiramu abantu 6. Kino akisazeewo nga alambula ekkolero lino oluvanyuma lw’okukizuula nti ekkolero tekuli  makubo gayitwamu nga omuliro gukutte sso nga era babadde bookyera […]

Mukaaga bafiiridde mu muliro

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Poliisi kyadaaki amalirizza okuzikiza omuliro ogwaakutte kkampuni y’emifaliso eya Crestfoam nga bigenze okuggwa ng’abantu mukaaga kikakasiddwa nti bafudde Emirambo gy’abantu bano gibadde giyidde nnyo nga kizibu okubategeera Akulira poliisi enziinya mooto , Joseph Mugisa agamba nti kati emirambo gya bano gigenda kwekebejjebwa okusobola okugiwa ab’enganda […]

Omukulembeze wakulongoosebwa eddokooli

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Omukulembeze w’eggwanga lya Zambia Edgar Lungu wakulongoosebwa edokooli. Lungu eyalondebwa mu January w’omwaka guno yazirise bweyabadde ayogerako ,eri abantu ku mikolo gy’abakyala olunaku lwajjo mu kibuga ekikulu Lusaka Omukulu ono aludde nga yegaana nga bw’atali mulwadde yadde ng’amawulire gaali gafulumye Lungu ow’emyaka 58 yeeyadda mu […]

Ebya Nebanda bibigudde

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Omusawo omukugu mu kwekebejja ebisigalira by’abantu Dr. Sylvester Onzivua addukidde mu kkooti ng’ayagala kusasulwa lwa gavumenti kumuggulako misango mu bukyaamu Bino byekuusa ku kufa kw’eyali omubaka we Butalejja Cerina Nebanda Dr. Onzivua agamba nti gavumenti yakola nsobi okumukata n’okumuggalira okwo kw’ossa n’okumuggulako emisango olw’okutambuza ebisigalira […]

Abe Makerere bagaanye okukkaanya

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Ab’ettendekero lye Makerere balemereddwa okutuuka kukukkaanya n’abayizi ku ky’okujjawo ensako y’abayizi abasasulirwa gavumenti Ensimbi zino ziweebwa abayizi okweyimirizaawo nga batwala mu maaso emisomo gyaabwe Omukungu atwala ebyensimbi mu ttendekero lino Prof Barnabas Nawangwe agamba nti ensimbi zino zajjibwaawo mu mwaka gwa 2010 neziddizibwa mu kugula […]