Amawulire

Ebya Nebanda bibigudde

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Cerina Nebanda

Omusawo omukugu mu kwekebejja ebisigalira by’abantu Dr. Sylvester Onzivua addukidde mu kkooti ng’ayagala kusasulwa lwa gavumenti kumuggulako misango mu bukyaamu

Bino byekuusa ku kufa kw’eyali omubaka we Butalejja Cerina Nebanda

Dr. Onzivua agamba nti gavumenti yakola nsobi okumukata n’okumuggalira okwo kw’ossa n’okumuggulako emisango olw’okutambuza ebisigalira bya Nebanda mu mwaka 2012

Agamba nti omulimu guno gwaali gumuwereddwa sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga eyamusindika mu ggwanga lya SouthAfrica kyokka yyo gavumenti n’epapiriza okumukwata

Ayagala asasulwe obukadde kikumi kubanga mu kaseera ako webamusibira, yalina okugenda ebweru okusoma ky’ataakola n’okuswazibwa