Amawulire

Abe Makerere bagaanye okukkaanya

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

MUK strike fe

Ab’ettendekero lye Makerere balemereddwa okutuuka kukukkaanya n’abayizi ku ky’okujjawo ensako y’abayizi abasasulirwa gavumenti

Ensimbi zino ziweebwa abayizi okweyimirizaawo nga batwala mu maaso emisomo gyaabwe

Omukungu atwala ebyensimbi mu ttendekero lino Prof Barnabas Nawangwe agamba nti ensimbi zino zajjibwaawo mu mwaka gwa 2010 neziddizibwa mu kugula ebikozesebwa ku ttendekero okuli ebyuuma n’ebitabo era nga tebasobola kukyusaamu

Nawangwe agamba nti ensimbi zino tezaali za tteeka wabula kwagala kwanguyizaako bayizi kyokka nga kati tekikyasoboka

Omwogezi w’olukiiko lw’abayizi Chark Benson agamba nti kati ensonga bakuzongerayo eri omukulembeze w’eggwanga era nga bakusigala nga beekalakaasa okutuuka nga bawuliddwa