Amawulire

Mukaaga bafiiridde mu muliro

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Crest foam 2

Poliisi kyadaaki amalirizza okuzikiza omuliro ogwaakutte kkampuni y’emifaliso eya Crestfoam nga bigenze okuggwa ng’abantu mukaaga kikakasiddwa nti bafudde

Emirambo gy’abantu bano gibadde giyidde nnyo nga kizibu okubategeera

Akulira poliisi enziinya mooto , Joseph Mugisa agamba nti kati emirambo gya bano gigenda kwekebejjebwa okusobola okugiwa ab’enganda zaabwe

Ekiri ku kkampuni eno miranga ng’abakozi n’abenganda bagenda mu maaso n’okulajaanira abaabwe

Bbo ababadde ng’omuliro gutandika bagamba nti nabo baalabye mukka kwekuvaayo nebakubira poliisi ng’aba crest foam babadde tebalina gwebayise

Bbo aba kkampuni eno bagaanye okubaako nekyebanyega ku nsonga eno.