Amawulire

Eyali muk’omukulembeze w’eggwanga asibiddwa

Ali Mivule

March 10th, 2015

No comments

Bagbo

Eyali mukomukulembeze w’eggwanga lya Ivory Coast  Simone Gbagbo asibiddwa emyaka 20.

Nakyaala ono avunanibwa kwetaba mu butabanguko obwali mu ggwanga lino oluvanyuma lw’okulonda kwa 2010.

Mukyala Gbagbo abadde avunanibwa gwa kunyomoola byakwerinda bya ggwanga lino.

Ono nga bw’atandika okumanyiira embeera y’ekkomera, yye bba era eyali pmukulembeze w’eggwanga lino  Laurent Gbagbo alindirira kuvunanibwa kkooti y’ensi yonna oluvanyuma lw’okugaana okuwaayo obuyinza eri Alassane Ouattara eyamuwangula mu kalulu.

Abantu abasoba mu 3000 bafiira mu kasambatuko akaali mu ggwanga lino oluvanyuma lwa Gbagbo okugaana okuwayo entebe nga awanguddwa.