Amawulire

Aba Crest Foam bavuddemu omwasi

Ali Mivule

March 12th, 2015

No comments

Kyaddaki abakulira ekkolero ly’emifaliso bavuddemu ekigambo ku muliro ogwakwata ekkolero lyabwe nemufiiramu abantu 6. Bano bategezezza nga eby’okuliyirira abafiiriddwa abaabwe mu muliro bwebijja okukolebwako nga alipoota ya poliisi ku muliro guno emaze okufuluma.   Mu nsisinkano gyebabaddemu ne minisita w’eby’obusubuzi  Amelia Kyambadde, akulira kampuni ya […]

Endaga butonde zikoleddwa ku ba crestfoam

Ali Mivule

March 11th, 2015

No comments

Ab’enganda z’abantu omukaaga abafiiridde mu muliro ogwakutte kkampuni ya Crest Foam  bajjiddwaako omusaayi okukakasa obukwate baabwe n’abegenzi olwo basooke bafune emirambo gyaabwe Bino bibadde ku kkeberero ly’endagabutonde erisangibwa e Wandegeya Omwogezi wa poliisi Patrick Onyango agambye nti okwawukanako n’ebibadde bigambibwa nti endagabuntonde zakukolebwa bweru wa […]

Kigongo ne mukyala we bategeraganye

Ali Mivule

March 11th, 2015

No comments

Ssentebe wa NRM Alhajji Moses Kigongo kyaddaaki ategeraganye n’eyali mukyala we Olive Kigongo okufuna omuntu anabala ensimbi eziri mu by’obuggagga byaabwe nga tebannalowooza ku kugabana Mu nteseganya ebikubiriziddwa omulamuzi Yorokamu Bamwine, ababiri bano era bategeraganye okufuna obubazi w’ebitabo okuyita mu banka gyebatereka ensimbi okuli Barclays, […]

Kabuyonjo za city square ziggaddwa

Ali Mivule

March 11th, 2015

No comments

Ekitongole kya Kampala capital city Authority kirangiridde nga bwekiggadde kabuyonjo zaayo ku City Square. Kino kikoleddwa okusobozesa omulimu gw’okuziddabiriza okugenda mu maaso. Amyuka atwala ebyobulamu mu KCCA Dr. Daniel Okello agamba kabuyonjo zino zaazimbibwa emyaka 40 emabega ng’abantu ssi bangi kyokka nga bazze beyongera Ono […]

Doola epadde n’ekaabya abantu

Ali Mivule

March 11th, 2015

No comments

Abasuubuzi baakuno batandise okuloza ku bulumi bwa doola okulinya nga siringi yyo eyongera kunabuuka. Akawungeezi akayise  doola ya amerika  y’abadde egula  siringi  3,000 . Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi bomu Kampala ekya KACITA Everest Kayondo  agamba abasuubuzi banji bandisuulawo bizinesi kubanga ebyamaguzi n’ensimbi zopupangisa babisasula mu […]

Abe Kyambogo batabuse- Muntu abiyingiddemu

Ali Mivule

March 11th, 2015

No comments

Ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Maj. Gen. Mugisha Muntu ategezezza nga bwebagenda okulondoola embeera ku ttendekero  ly’e Kyambogo nga abayizi betegekera  okulonda omukulembeze waabwe.   Muntu agamba baagala kulaba nga okulonda kuno kubeera kwamazima.   Muntu n’omubaka w’abavubuka okuva mu bugwanjuba bw’eggwanga  Gerald Karuhanga  bebannabyabufuzi abasoose […]

Palamenti etabukidde bannamawulire

Ali Mivule

March 11th, 2015

No comments

Palamenti eragidde emikutu gy’amawulire gyonna okusindika bannamawulire abalala abanasaka aga palamenti bagyeyo abo bonna abamazeeyo emyaka egisukka mu 5. Mu bbaluwa eyawandiikiddwa nga  9th March 2015, omuwandiisi wa palamenti Jane Kibirige agamba kino kigendereddwamu kulaba nga tewabaawo kyekubira yenna mu mawulire agasakibwa mu palamenti. Kibirige […]

Alipoota ku crestfoam tennaba kufuluma

Ali Mivule

March 11th, 2015

No comments

Poliisi y’akukwata abakulira ekkolero ly’emifaliso erya Crest Foam ku muliro ogwakutte ekkolero lino omwafiiridde abantu 6 nga bamaze okufuna alipoota okuva eri minisitule y’ebyemirimu n’entambula ku kizimbe ekyabengeye.   Olunaku olweggulo minisita w’ebigwa tebiraze n’ebibamba Hillary Onek y’alagidde bano bakwatibwe olw’okulemererwa okutuukiriza ebirina okugobererwa mu […]

Ebya Crestfoam bituuse mu palamenti

Ali Mivule

March 10th, 2015

No comments

Ensonga z’omuliro ogwakutte kkampuni ya Crest Foam abantu mukaaga bamale bafe etuuse mu palamenti. Kati abakiise b’abakozi mu palamenti bagaala wabeewo okunonyereza ku muliro guno era alipoota eyanjibwe sso ssi kussibwa mu nkwaawa Ng’ayogerera mu palamenti olweggulo lwaleero, omubaka w’abakozi Arinaitwe Rwakajara agambye nti abantu […]

Amayinja gamubisse

Ali Mivule

March 10th, 2015

No comments

Omusajja ow’emyaka abiri mu etaano abikiddwa amayinja n’afiirawo Enjega eno egudde ku kyaalo Butale ekisangibwa e Masaka . Ssentebe w’ekyalo kino Herman Jagwe omugenzi amumenye nga Swaibu Ssentamu. Ono agamba nti ayitiddwa abalombe abalala abalabye amayinja nga gakulukuta Jjagwe agambye nti ekirombe kino kirabika bakisimye […]