Amawulire

Abe Kyambogo batabuse- Muntu abiyingiddemu

Ali Mivule

March 11th, 2015

No comments

Muntu in Kabale

Ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Maj. Gen. Mugisha Muntu ategezezza nga bwebagenda okulondoola embeera ku ttendekero  ly’e Kyambogo nga abayizi betegekera  okulonda omukulembeze waabwe.

 

Muntu agamba baagala kulaba nga okulonda kuno kubeera kwamazima.

 

Muntu n’omubaka w’abavubuka okuva mu bugwanjuba bw’eggwanga  Gerald Karuhanga  bebannabyabufuzi abasoose okutuuka ku poliisi ya Jinja Road nga baagala muyizi munaabwe Gilbert Mugabi eyakwatiddwa ayimbulwe mangu.

 

Mugabi y’akwatiddwa oluvanyuma lw’omu ku bayizi okufumitibwa ekiso mu kampeyini ezigenda mu maaso.

 

Muntu ategezezza nga poliisi bwebakakasizza nti Mugabi waakuyimbulwa mu ssaawa ezitali za wala nyo nga era abamu ku baserikale ba poliisi ya Jinja Road baasindikiddwa dda ku ttendekero lino okusobola okunyweza eby’okwerinda.