Amawulire

Mubajje apondose e Masaka

Ali Mivule

March 5th, 2015

No comments

E Masaka ekibinja ky’abayisiraamu ekiwagira Mufti  Sheikh Shaban Mubajje kipondoose nekikyuusa omuzikiti webagenda okumukyaliza ku Juma y’enkya oluvanyuma lw’abalala okuwera okutaataganya enteekateeka eno. Omubaka wa pulezidenti e Masaka  Linos Ngompek ategezezza nga bwebatuuse ku nzikiriziganya wakati w’ekiwayi ky’e Kibuli ekikulemberwa Supreme Mufti Sheikh Zubai Kayongo […]

Ogwa Lukwago gujulidde neera

Ali Mivule

March 5th, 2015

No comments

Okuwulira omusango gwa loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago nga awakanya omulamuzi omu okumugoba mu ofiisi kugudde butaka. Kino kiddiridde munnamateeka wa Lukwago  Medard Lubega Segona okufuna ebbaluwa eyawandiikibwa nga  3rd March okulaga nti omu ku balamuzi taliiwo. Segona agamba kano kakodyo ka gavumenti kukandaliriza […]

Bart Katureebe ye ssabalamuzi omuggya

Ali Mivule

March 5th, 2015

No comments

Omulamuzi Bart Magunda Katurebe ye ssabalamuzi w’eggwanga omujja. Alondeddwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni amakya galeero nga era wakumyukibwa abadde akola nga ssabalamuzi  Steven Kavuma . Omwogezi wa gavumenti  Ofwono Opondo akakasizza kino n’ategeeza ng’emannya ga bano kati bwegagenda okusindikibwa mu palamenti okukakasibwa Okulondebwa kwa Katureebe […]

Katikkiro alabudde abagula abalonzi

Ali Mivule

March 4th, 2015

No comments

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayega avumiridde ebikolwa by’okugulirira abalonzi wano mu ggwanga mu biseera by’obululu. Ono ategezezza nti ebikolwa bino biviira ddala wansi mu baana nga kyetaagisa abasomesa okubatendeka obulungi bakule nga bakimanyi nti okugula abalonzi kibi era tekitwala nsi yattu mu maaso. Katikkiro […]

Okusasula aba Northern bypass kutandise

Ali Mivule

March 4th, 2015

No comments

Ab’ekitongole ky’enguudo ekya UNRA batandise enteekateek y’okusasula abo bonna abagenda okukosebwa okugaziya oluguudo lwa Northern Bypass Abo bonna abagenda okukosebwa bakungaanidde ku ssomero lya Cleveland e Kyebando ng’eno okuwandiisa gyekubadde Omu ku babadde mu lukiiko luno ye Williams Kafeero agambye nti akikoze kubanga abo abaagana […]

Ba ma seeka basabye okweyimirirwa

Ali Mivule

March 4th, 2015

No comments

Bana ku bantu 18 abaakwatibwa nga bavunaanibwa okubeera emabega w’okutemula abasiraamu basabye okweyimirirwa Bano nga baluganda kuliko Sheikh Ssiraje Kawooya, Sheikh Rashid Jjingo, Sheikh Abdu Salam Ssekayanja, ne Sheikh Twaha Ssekitto Nga bayita bannamateeka baabwe aba Sserwadda and Company Advocates bagamba nti ddembe lyaabwe okweyimirirwa […]

Mufti asattizza Masaka

Ali Mivule

March 4th, 2015

No comments

E Masaka, bunkenke ng’abaayo betegekera okukyala kwa Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje Mufti wakulemberamu okusaala Juma ku muzikiti omukulu ng’akabonero akalaga obumu. Wabula abakulembeze b’abasiraamu baweze nga bwebatajja kwetaba mu kusaala kuno kubanga kandiba akakodyo okubanyakulako omuzikiti gwaabwe Disitulikiti Khadi we Masaka Sheik […]

Bi Tuleera bitomeraganye

Ali Mivule

March 4th, 2015

No comments

Bi tuleera bina bikonaganye nebireka omuntu omu nga mukalu wajjo Akabenje kano kabaddi Namataba ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja Akabenje kano kigambibwa okuba nga kavudde ku dereeva wa ki tuleera abadde akyuusa omupiira gwe mu kkubo okukoonwa ki tuleera ekirala Atwala poliisi […]

Eyabadde ayekeera Omukama agguddwaako omusango

Ali Mivule

March 4th, 2015

No comments

Omulangira eyabadde ayagala okuwamba entebe y’omukama we Tooro agguddwaako emisango gy’okukuma mu bantu omuliro David Kijanangoma owe Tooro yakwatiddwa olunaku lwajjo ne Baganda be okuli Jubilee Kamara ne Allan Kawaya Kagoro Kijanangoma yaleese akasattiro mu bukama bwe Tooro bweyerangiridde ku bukulu ng’alanga omukama Oyo Nyimba […]

Otunnu siwakuddamu kukulira UPC

Ali Mivule

March 4th, 2015

No comments

Akulira ekibiina kya UPC Dr Olara Otunnu alangiridde nga bw’atagenda kuddamu kwesimbawo ku bwa pulezidenti bwa UPC Ono bino abirangiridde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina Kino kijjidde mu kaseera ng’ebula myezi mitono okulonda mu ggwanga kubeewo Otunnu bukyanga alya bukulu abadde ali mu ntalo […]