Amawulire

Essomero lya Victorious lyandisengulwa

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Essomero lya Victorious erisangibwa e Bakuli lyandisengulwa Kiddiridde omukyala ategerekese nga Afisa  Namukasa Bikaaku okuddukira mu kkooti ng’agamba nti ye nanyini ttaka okuli essomero lino ku luguudo lwe Namirembe e Bakuli Namukasa agamba nti yenanyini ttaka lino kyokka nga yalibwaamu olukwe banyina okuli Siraj Wasswa […]

Aba FDC bawera

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya FDC ssibakulekera awo kuvumirira nteekateeka za gavumenti ez’okwetoloola mu kuwereeza abantu Ng’ayanjula enteekateeka ya FDC eri bannayuganda ng’ekibiina kyetegekera okulonda, Akulira ekibiina kino Gen Mugisha Muntu agambye nti essira bakulissa mu mbeera za bantu omuli n’okussaawo banka enayamba okusakirira abalimi Ono agambye nti […]

Enkuba ejja- ab’entebereeza y’obudde boogedde

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Ettaka lyakuddamu okubumbulukuka ku nsozi za Elgon ate abe Kasese nabo bakulumbibwa amataba Bino bivudde mu kitongole kya gavumenti ekikola ku ntebereza y’obudde ng’eno etunuulidde ku bbanga ly’okuva kati okutuuka mu gw’okutaano. Okusinziira ku kitongole kino, ebitundu ebiriraanye enyanja Nalubaale byakufuna enkuba eyabulijjo era nga […]

Amasomero gaggaddwa

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Amasomero 2 e Pallisa gagaddwa lwabutatukagana namutindo. Gano kuliko  King Fahad Islamic ne  Greenland schools mu tawuni kanso ya Pallisa. Avunanyizibwa okulondoola amassomero mu disitulikiti eno  Hellen Rose Asio agamba amassomero gano gasangiddwa nga ebizimbe bikutte mu mbinabina nga byabulabe eri obulamu bw’abayizi. Ebizimbe bino […]

Batabukidde omutemu-Bamugobye ku kyaalo

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Poliisi mu disitulikiti ye  Sembabule etandise okunonyereza ku bbiina ly’abantu abaasanyizzaawo amaka ga mutuuze munaabwe nga bamulumiriza okubeera omutemu. Abantu bano ababadde batasalikako musale basoose kuwuttula  Damiano Bizimungu olwo amakage nebagakoona nga bamulumiriza okubaako nekyamanyi ku kutibwa kwa  Clement Musoke. Kigambibwa nti  Bizimungu yasemba okulabibwa […]

Besigye ne banne betaagibwa mu kkooti

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Omulamuzi wa kkooti ye Kabale  Godfrey Kaweesa ayisizza ebibaluwa Bibakuntumye eri eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Dr  Kizza Besigye ne banne abalala. Besigye yetaagibwa n’omubaka wa  Rukungiri Roland Mugume Kaginda, akulira abakyala mu FDC  Ingrid Turinawe, Loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago, meeya we Kawempe […]

Bbomu ebaluse

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Poliisi eri mu kunonyereza ku bantu 2 abatiddwa  bbomu ezaalekebwa mu ttaka ku kyalo Kamusenene mu disitulikiti ye Nakaseke.   Abagenzi bategerekese nga  Dan Ssemakadde ne  Simeo Mukwaya Kabaya sso nga waliwo omulala alumiziddwa ategerekese nga Abdul Kasakya,omutuuze mu disitulikiti ye Kayunga.   Omwogezi wa […]

Abayizi be Makerere batabuse- mutuwe ssente zaffe

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Abakulembeze b’abayizi ne ssenkulu w’ettendekero ly’e Makerere besozze akafubo oluvanyuma lw’abayizi okwekalakaasa. Abayizi amakya galeero bakedde kwekalakaasa  olw’etteeka ly’okumalayo ebisale byonna  mu wiiki 6 ezisooka nga olusoma lwakatandika nga n’abasasulirwa gavumenti  bemulugunya ku nsako yabwe okulwawo okubaweebwa. Wabula amyuka ssenkulu w’ettendekero lino ategezezza nga ye […]

Kkampuni ya Crestfoam ekutte omuliro

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Kampuni y’emifaliso eya Crest Foam ekutte omuliro. W’owulirira bino nga abazinya mooto bali mu kulwanagana n’omuliro guno wali  ku Stretcher  e Ntinda Poliisi ezibye oluguudo lwonna okuwa ekyanya abazinya mooto okuzikiza omuliro guno.

Abayizi be Makerere beekalakaasa

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Abayizi be Makerere batanudde okwekalakaasa Bawakanya eky’okulwaawo okuwa abayizi ba gavumenti ensimbi zaabwe awamu n’etteeka eriragira nti abayizi bonna balina okumalayo fiizi mu wiiki omukaaga ezisooka Poliisi ekyalwana kubakuumira munda mu ttendekero. Ebisingawo bijja