Amawulire

Aba FDC bawera

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Muntu 2

Ab’ekibiina kya FDC ssibakulekera awo kuvumirira nteekateeka za gavumenti ez’okwetoloola mu kuwereeza abantu

Ng’ayanjula enteekateeka ya FDC eri bannayuganda ng’ekibiina kyetegekera okulonda, Akulira ekibiina kino Gen Mugisha Muntu agambye nti essira bakulissa mu mbeera za bantu omuli n’okussaawo banka enayamba okusakirira abalimi

Ono agambye nti abalimi bangi beetaga ensimbi okwongera mu byebalima kyokka nga batya okwewola olw’amagoba agali waggulu.

Muntu era asuubizza nti ekibiina kya FDC bwekinaatuuka mu buyinza ssikyakuttira muntu yenna alya enguzi ku liiso

Mu kusooka eyali akulira abayizi be Makerere Ann Adeke avumiridde ekya bakulu mu gavumenti okugabira abavubuka ensimbi olwo nebakola buli kitategerekeka ekisse endoowooza zaabwe ezetengeredde.