Amawulire

Besigye ne banne betaagibwa mu kkooti

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Besigye and Lukwago in court

Omulamuzi wa kkooti ye Kabale  Godfrey Kaweesa ayisizza ebibaluwa Bibakuntumye eri eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Dr  Kizza Besigye ne banne abalala.

Besigye yetaagibwa n’omubaka wa  Rukungiri Roland Mugume Kaginda, akulira abakyala mu FDC  Ingrid Turinawe, Loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago, meeya we Kawempe Mubaraka Munyagwa n’abalala.

Bano betagibwa mu kkooti nga 23 April ku musango gw’okukuma omuliro mu bantu n’okwonona emmotoka za poliisi.

Bannamateeka ba gavumenti nga bakulembeddwamu Batson Baguma balumiriza nti nga 14 Juky 2012 abavunaanwa bano bwebaali ku lukungaana lw’ebyobufuzi ku kisaawe kya disitulikiti  baakuma omuliro mu bawagizi baabwe nebakasukira poliisi amayinja nebalumya abaserikale 4 wamu n’okwonona emmotoka za poliisi 3.