Amawulire

Batabukidde omutemu-Bamugobye ku kyaalo

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

planationa destroyed

Poliisi mu disitulikiti ye  Sembabule etandise okunonyereza ku bbiina ly’abantu abaasanyizzaawo amaka ga mutuuze munaabwe nga bamulumiriza okubeera omutemu.

Abantu bano ababadde batasalikako musale basoose kuwuttula  Damiano Bizimungu olwo amakage nebagakoona nga bamulumiriza okubaako nekyamanyi ku kutibwa kwa  Clement Musoke.

Kigambibwa nti  Bizimungu yasemba okulabibwa n’omugenzi nga mu bbaala emu nga bayomba oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya.

Bano era basaze embuzi za Bizimungu 5 wamu n’okwonona ebintu ebirala.

Omwogezi wa poliisi mu maserengeta g’eggwanga  Noah Sserunjoji, ategezezza nga poliisi bwetandise okunonyereza ku nsonga eno era bali ku muyiggo gw’abatwalidde amateeka mu ngalo.