Amawulire

Ebikozesebwa mu kulonda bituuse

Ali Mivule

March 18th, 2015

No comments

Ebigenda okukozesebwa mu kuddamu okulonda e Bugiri bituusiddwa ku kitebe kya disitulikiti ye Bugiri Bino bigenda kukozesebwa mu kulonda ssentebe wa disitulikiti, ne ba kansala b’abakyala abe Busoowa ne Nkaiza Omwogezi w’akakiiko akalondesa Jotham Taremwa agamba nti tebannafuna buzibu bwonna n’akunga abantu okwetaba mu kulonda […]

Abaana banunuddwa okuva ku bayekeera

Ali Mivule

March 18th, 2015

No comments

Poliisi eriko abaana 23 b’enunudde nga bano babadde bagenda kuggattibwa ku bayeekera ba ADF 14 bajjiddwa ku musajja amanyiddwa nga Sheikh Abdul Mbazira’ e Namawojjolo ate abalala basangiddwa wa Hajati Mariam Athuman Nalumagga e Mpooma mukono. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti Sheikh Mbazira […]

Eyayiira mukyala we Acid alabiseeko mu kkooti

Ali Mivule

March 18th, 2015

No comments

Omusajja agambibwa okuyiira mukyala we acid n’afa omusango gwe gusindikiddwa mu kkooti enkulu ey’eggwanga Omulamuzi wa kkooti ye Nakawa Flavia Nassuna y’asindise Kasim Kakaire mu kkooti enkulu yewozeeko ku misango gy’ettemu Oludda oluwaabi lugamba nti mu mwaka oguwedde, Kakaire yagula abantu abalumba mukyala we Josephine […]

Mukole nnyo ate mujjukire Katonda- Faaza mu kusabira AK

Ali Mivule

March 18th, 2015

No comments

Abavubuka bakubiriziddwa okujjukira Katonda mu buli kyebakola n’okukola enyo mu ensi eno. Buno bwebubadde obubaka bwa Faaza  John Mugabo akulembeddemu emisa y’okusabira omwoyo gw’omugenzi    Emmanuel Mayanja banji gwebamanyi nga  AK47 wali ku ekeleziya y’abakatouliki e  Lweza. Faaza omugenzi amunyonyodde nga abadde n’ekitone era omukozi nga […]

Abe Makerere balonda

Ali Mivule

March 18th, 2015

No comments

Abayizi ba zi yunivasite balabuddwa obutakkiriza kukozesebwa bannakigwanyizi ababakumamu omuliro okwekalakaasa. Bw’abadde ayogerako eri abayizi abekalakaasa ku ttendekero lya Busoga University, amyuka ssenkulu w’ettendekero lino  Lameka Kibikyo ategezezza nga bwewaliwo amakubo omutali buvuyo agasobolwa okuyitibwamu okugonjoola ensonga. Abayizi ku ttendekero lino bavudde mu mbeera nebekalakaasa […]

Okukakasa abaalondebwa Museveni- Kavuma ali mu lusuubo

Ali Mivule

March 18th, 2015

No comments

Nga okukakasa baminisita ne ssabalamuzi w’eggwanga kukyagenda mu maaso ku palamenti, omubaka w’abavubuka b’obugwanjuba bw’eggwanga  Gerald Karuhanga akyafuba okulaba nga amyuka ssabalamuzi w’eggwanga Stephen Kavuma takakasibwa. Nga akulembeddwamu munnamateekawe eyali omulamuzi wa kooti yokuntikko George Kanyeihamba, Karuhanga, galeero akwanze sipiika ekiwandiiko palamenti ereme kukakasa Kavuma […]

Abalina Typhoid beeyongedde

Ali Mivule

March 18th, 2015

No comments

Omuwendo gw’abalwadde b’omusujja  gwomubyenda ogwa Typhoid gweyongedde wano mu Kampala. Ab’ebyobulamu okuva ku ddwaliro lya Kisenyi Health center 4 bategezezza nga bwebaafunye abalwadde abasoba mu 400 nga bateberezebwa okubeera ne typhoid. Akulira eby’obulamu mu KCCA  Dr. David Sserukka agamba kati abantu abasoba mu 2300 bebalina […]

Omuyimbi AK 47 afudde-ekimusse matankane

Ali Mivule

March 17th, 2015

No comments

 Omuyimbi  Emmanuel Mayanja amanyiddwa nga AK47 afudde. Ono ye muto w’omuyimbi  Jose Chameleone, nga yafudde yakatuusibwa mu ddwaliro lye Nsambya oluvanyuma lw’okugwa mu kinaabiro mu bbaala ya Dejavu e Kabalagala gy’abadde ne banne. Akulira ekibiina ekigatta abayimbi ne bannakatemba Andrew Benon Kibuuka aagambye nti okufa […]

Masengere eyoyooteddwa

Ali Mivule

March 16th, 2015

No comments

Obwakabaka bwa Buganda bukakasizza abantu ba Ssabasajja Kabaka nti ekizimbe kya Masengere kigenda kumalirizibwa mu budde era kikwasibwe omutanda ku mazaalibwa ge Ssabassajja agenda kuba aweza emyaka 60 egy’obuto nga 13 omwezi ogujja Omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi Ssengendo agambye nti ebintu 98% eby’okuzimba ekizimbe […]

Nambooze akaaye ku baakwatibwa

Ali Mivule

March 16th, 2015

No comments

Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze awadde poliisi okutuuka olwaleero okutwala mu kkooti abantu omukaaga abakwatibwa ku byekuusa ku kutta abasiraamu Ku bakwatibwa kwekuli dereeva wa ambulensi ya Nambooze ng’ono ye Sheikh Abubaker Kayiwa. Nambooze agamba nti banoonyezza buli wamu, abaakwatibwa nebababula nga batuuseeko […]