Amawulire

Mukole nnyo ate mujjukire Katonda- Faaza mu kusabira AK

Ali Mivule

March 18th, 2015

No comments

Body at theater

Abavubuka bakubiriziddwa okujjukira Katonda mu buli kyebakola n’okukola enyo mu ensi eno.

Buno bwebubadde obubaka bwa Faaza  John Mugabo akulembeddemu emisa y’okusabira omwoyo gw’omugenzi    Emmanuel Mayanja banji gwebamanyi nga  AK47 wali ku ekeleziya y’abakatouliki e  Lweza.

Faaza omugenzi amunyonyodde nga abadde n’ekitone era omukozi nga n’enyimba ze nga Nalongo bwezibadde zetikka obubaka eri bannayuganda.

Abamu ku bakungubazi kubaddeko  ab’enyumba y’omugenzi , abawagizibe ssaako nebayimbi banne okubadde Iryn Nmubiru n’abekibiina kyakatemba ekya Ebonies.

Omulambo gw’omugenzi kati guli mu maka ga kitaawe Gerald Mayanja e  Seguku Katale nga olunaku olwenkya gwakutwalibwa  ku kyalo Busaato e Kalangalo mu disitulikiti ye Mityana omugenzi gy’agenda okuzikibwa.