Amawulire

Masengere eyoyooteddwa

Ali Mivule

March 16th, 2015

No comments

Masengere latest

Obwakabaka bwa Buganda bukakasizza abantu ba Ssabasajja Kabaka nti ekizimbe kya Masengere kigenda kumalirizibwa mu budde era kikwasibwe omutanda ku mazaalibwa ge

Ssabassajja agenda kuba aweza emyaka 60 egy’obuto nga 13 omwezi ogujja

Omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi Ssengendo agambye nti ebintu 98% eby’okuzimba ekizimbe kino biwedde era nga kati, basigadde kutereeza wamu nakwongera kuwunda kizimbe.

Walusimbi era agambye nti akakiiko akateesiteesi kaamaze dda okukwatagana ne poliisi okulaba nti eby’okwerinda bibeera gguluggulu, olwanamungi w’omuntu asuubirwa okubeera ku mukolo guno.

Amazalibwa gano gakukuzibwa mu bimuli bya Bulange era ng’entambi gagadde zakutekebwa ku luguudo wa Kabaka njagala okusobozesa abantu okwetaba obulungi ku mukolo.

Mu ngeri yeemu obwakabaka bwa Buganda butongozezza ebintu ebiriko obubaka bwa Ssabasajja ebigenda okutundibwa mu mazaalibwa gano.

Ebintu bino omuli, ebikopo ebiriko  ekifanaanyi kya Kabaka wamu n’ekizimbe kya Masengere, emijoozi,wamu n’ebintu ebirala.

Akulira ekitongole kya Majestic Brands Omumbejja Nakayenga agambye nti ensimbi ezinaava mu kutunda ebintu bino, zakwongera okuyamba obuganda.