Amawulire

Okukakasa abaalondebwa Museveni- Kavuma ali mu lusuubo

Ali Mivule

March 18th, 2015

No comments

Kadaga

Nga okukakasa baminisita ne ssabalamuzi w’eggwanga kukyagenda mu maaso ku palamenti, omubaka w’abavubuka b’obugwanjuba bw’eggwanga  Gerald Karuhanga akyafuba okulaba nga amyuka ssabalamuzi w’eggwanga Stephen Kavuma takakasibwa.

Nga akulembeddwamu munnamateekawe eyali omulamuzi wa kooti yokuntikko George Kanyeihamba, Karuhanga, galeero akwanze sipiika ekiwandiiko palamenti ereme kukakasa Kavuma okutuusa nga omusango gweyatwala mu kkooti guwuliddwa.

Mu bbaluwa, Karuhanga asabye palamenti ereme kukakasa Kavuma kubanga teyasaba mulimu guno era teyasembebwa kakiiko k’abalamuzi kale nga tasanye kuweebwa mulimu guno.

Wabula wabaddewo Katemba munnamateeka Kanyeyihamba bwakubye omulanga lwa kkooti okugaana okuyimiriza okukakasibwa kwa Kavuma ku bw’omumyuka bwa ssabalamuzi w’eggwanga.

Kino kiddiridde omuwandiisi wa kkooti  Elena Kayinza okutegeeza nga bwali omulwadde nga alina okulaba omusawo kale nga tasobola kukola ku nsonga y’abano olwaleero.

Nga ezziga ly’omusajja bweriva ewala Kanyeihamba agamba akaabye lw’akulinyirirwa kwa ssemateeka n’obwenkanya obugenda buggwa mu ggwanga.