Amawulire

Ogw’ababaka gujulidde

Ali Mivule

March 10th, 2015

No comments

rebel MPS

Okuwulira omusango gw’ababaka ba palamenti 4 abaagobwa mu kibiina kya NRM kugudde butaka olw’omu kubalamuzi Christine Kitumba okuba nga mukosefukosefu.

Abana bano bawakanya ekya kkooti etaputa ssemateeka okubagoba mu palamenti oluvanyuma lw’ekibiina kyabwe okubanabira mu maaso.

Bano kuliko  Theodore Sekikubo (Lwemiyaga), Muhammed Nsereko (Kampala Central), Wilfred Niwagaba (Ndorwa East) ne Barnabas Tinkasimire (Buyaga County).

Omwaka oguwedde kkooti eno yayimiriza eky’okugoba abana bano mu palamenti okutuusa nga okwemulugunya kwabwe kuwuliddwa.

Abana bano baagobwa mu NRM oluvanyuma lw’okugaana okulabikako mu maaso g’akakiiko k’ekibiina akakwasisa amateeka nga era ekibiina kino kati kigamba baba balina okuva mu palamenti ababaka bano kyebawakanya.