Amawulire

Bunkenke e Kyambogo- abayiz beekalakaasizza

Ali Mivule

March 10th, 2015

No comments

Kyambogo students

Embeera ekyaali ya bunkenke ku ttendekero ly’e Kyambogo oluvanyuma lw’abamu ku bayizi okukeera okwekalakaasa.

Akawungeezi akayise waliwo omuyizi eyafumitiddwa ekiso oluvanyuma lw’okulwanagana wakati w’abawagizi ba munna FDC  Julius Nsubuga ne Ian Kafoko owa NRM nga bano besimbye ku ky’obukulembeze bw’abayizi.

Abayizi balumbye ekizimbe okutuula abatwala ettendekero lino nga baagala abaabadde emabega w’obulumbaganyi buno bakwatibwe.

Kino kiwalirizza poliisi okubiyingiramu nga era avunanyizibwa ku butebenkevu ku ttendekero lino Alfred Akankwasa ategezezza nga bwebasobode okukkakanya abayizi bano okwewala effujjo eddala okukolebwa.

Kampeyini z’abakulembeze b’abayizi ku ttendekero lino zaakomekerezeddwa olunaku olweggulo nga okulonda kusuubirwa ku lunaku lwokuna.