Amawulire

Aba DP banasisinkana

Ali Mivule

March 10th, 2015

No comments

Ab’ekibiina Kya DP balangiridde olukungaana lw’abakakiiko akafuzi olw’okubeerawo okuva ku lwokuna okutuusa olwomukaaga lwa ssabbiiti eno.

Dp egumire

Ssabawandiisi w’ekibiina kino Matthias Nsubuga agamba baakuteesa ku birina okugobererwa nga betegekera okulonda kwa 2016 oluvanyuma bikakasibwe.

Mu nsisinkano eno , baakuteesa ku ngeri gyebagenda okutegekamu akamyufu k’ekibiina era basuubirwa okukola enongosereza mu ssemateeka w’ekibiina olwenkyukakyuka mu by’obufuzi by’eggwanga.

Ebyo nga bikyali bityo munna DP eyesimbawo ku ky’omukulembeze w’eggwanga Samuel Lubega akomyewo ku kitebe ky’ekibiina nga ayagala kutabagana oluvanyuma lw’enjawukana ezaali zamujja mu kibiina kino.

Lubega ategezezza nti bannakibiina basaanye okwerabira obutakkanya obwaliwo mu 2010 mu lukungaana olwalonda Norbert Mao nga ssenkagale w’ekibiina kino.

Ategezezza nga bw’alina ekigendererwa ky’okuddamu okwesimbawo ku tikiti y’ekibiina ku bwa pulezidenti yadde nga amaze emyaka 3 nga teyetaba mu byabufuzi bwa kibiina.