Amawulire
Abe Makerere bavuddeyo ku kutemula omwana
Ssenkulu w’ettendekero lya Makerere Prof Mondo Kagonyera avumiridde abayizi abatandise okutwalira amateeka mu ngalo ku ttendekero lino. kino kiddiridde ebbiina ly’abayizi okukakana mu eyali omuyizi ku ttendekero lino David Ojok nebamukuba nebamutta ku kisulo kya Nkurumah. Kagonyera agamba poliisi esaanye okunonyereza era abo bonna abetaba […]
Basse omwana waabwe nga bagoba mizimu
Poliisi mu disitulikiti ye Masaka ekutte abantu basatu lwakukakana ku mwana nebamukuba emiggo nti bamugobamu mizimu nebamutta. Pauline Nakayenga omuyizi mu kibiina ekyokusatu ku ssomero lya Hill-Road Public Primary School y’akubiddwa obubi enyo nga era omubiri gwe gwonna gusangiddwako amabwa. Taata w’omwana ono Paul Tebandeke […]
Bbomu mu Somali esse 10
Abantu 10 bafiiridde mu bulumbaganyi bwa bbomu etegeddwa mu baasi y’ekibiina ky’amawanga amagatte mu ggwanga lya Somalia. Abeerabiddeko n’agabwe bategezezza omukutu gwa gw’amawulire ogwa BBC nga bwebalabye baasi eno nga ebwatuka. Abafudde kuliko banansi b’eggwanga lya Kenya ne Somalia abakolera ekibiina ky’amawanga amagatte. […]
Ettendekero lye Bukalasa liggulawo leero
Ettendekero ly’ebyobulimi n’obulunzi erye Bukalasa mu disitulikiti ye Luweero liggulawo olunaku olwaleero oluvanyuma lwa wiiki namba nga ligaddwa lwabayizi kwekalakaasa. Akulira ettendekero lino Christine Anyait agamba baabadde n’olukiiko nebakkiriziganya abayizi baddeyo leero basome wabula tategezezza oba ensonga z’abayizi ezaabaggye mu mbeera zinakolebwako. Ku […]
Bakwatiddwa n’ebyambo by’amaggye
Poliisi ye Lukaya mu disitulikiti ye Kalungu eriko abasajja 2 bekutte n’ebyambalo by’amagye. Vincent Kwesiga ne Asimwe Nabothi nga batuuze bokukyaalo Lubale mu disitulikiti ye Ntugamu . Bano bakwatiddwa akulira poliisi y’ebidduka mu disitulikiti eno Deo Kweyamba n’abaserikale b’ebidduka beyalagidde okuyimiriza kiloole mwebabadde namba UAV […]
Akakiiko ku South Africa katondeddwaawo
Gavumenti etaddewo akakiiko ak’enjawulo akagenda okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo bannayuganda abattiddwa mu ggwanga lya South Africa Akakiiko kano era kakuvaayo ne alipoota ekwata ku bannayuganda abali mu ggwanga lino n’engeri gyebayinza okuyambibwa Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga James Mugume agamba […]
Bbomu esse 33
Abantu 33 beebafiiridde mu bulumbaganyi bwa bbomu mu kibuga Jalalabad ekya Afghastan. Bbo abali mu kikumi babuuse n’ebisago eby’amaanyi. Obulumbaganyi obukoleddwa omulumira mwoyo eyabalusirizzaako bbomu bubadde wabweru wa banka abakozi ba gavumenti webabadde bakungaanidde okufuna emisaala gyaabwe Tewali kibinja kyavuddeyo kwewaana kukola bulumbaganyi buno nga […]
abalimi tebayambiddwa- Nadduli
Ssentebe wa disitulikiti ye Luweero Alhajji Abdul Nadduli agamba nti bingi ebirina okukolebwa okuyamba abalimi okufuna mu byebakola. Nadduli yabadde alambuza ekibinja kyabakungu okuva e Roma abazze okulaba embeera y’obudde mu Uganda n’engeri n’ekiyinza okukolebwa okuyamba abalimi okubaawo mu mbeera enzibu. Abakulu bano okuva e […]
Amawanga geegasse ku butujju- omu akwatiddwa
Abakulira poliisi mu mawanga ga East Africa bategeraganye okulondoola abasibe bonna abaali basingisiddwaako emisango. Ssabaduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura agamba nti kino kijja kubayamba okulemesa abantu bano okuddamu okuzza emisango gyegimu nandiki n’okuzza egisinga Kaihura ategeezezza nga kino era bwekijja okubayamba okulwanyisa ebikolw aby’ekitujju […]
Okuziika supreme mufti- Nakibinge aweze
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asabye abakulembeze b’obuyisiramu okugenda mu maaso nekawefube w’okugatta abasiramu alekeddwa supreme Mufti sheikh Zubair Kayongo. Bino pulezidenti abyogeredde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi wali ku muzikiti e Kibuli. Pulezidenti ategezezza nga omuganzi bw’abadde omwesimbu enyo nadala munteseganya ezibadde zigenda mu maaso […]