Amawulire

Bbomu mu Somali esse 10

Ali Mivule

April 20th, 2015

No comments

 

 

UN staff

Abantu 10 bafiiridde mu bulumbaganyi bwa bbomu etegeddwa mu baasi y’ekibiina ky’amawanga amagatte mu ggwanga lya Somalia.

Abeerabiddeko n’agabwe bategezezza omukutu gwa gw’amawulire ogwa BBC nga bwebalabye baasi eno nga ebwatuka.

Abafudde kuliko banansi b’eggwanga lya Kenya ne Somalia abakolera ekibiina ky’amawanga amagatte.

Abatujju ba Al-Shabab bano nga bakolagana n’abakambwe ba al-Qaeda balwanagana ne gavumenti ya Somalia okweddiza ebitundu by’eggwanga lino ebitali bimu.