Amawulire
Bakwatiddwa n’ebyambo by’amaggye
Poliisi ye Lukaya mu disitulikiti ye Kalungu eriko abasajja 2 bekutte n’ebyambalo by’amagye.
Vincent Kwesiga ne Asimwe Nabothi nga batuuze bokukyaalo Lubale mu disitulikiti ye Ntugamu .
Bano bakwatiddwa akulira poliisi y’ebidduka mu disitulikiti eno Deo Kweyamba n’abaserikale b’ebidduka beyalagidde okuyimiriza kiloole mwebabadde namba UAV 773U ekibadde kidda e Rukungiri okuva e Kampala.
Kweyamba ategezezza nga bwebayimirizza kiloole kino wabula oluyimiridde amaaso bagakubye ku kyambalo ky’amagye ekibadde kyambaziddwa ku mutto era wano n’alagira bakwatibwe.
Ye dereeva wa kiloole ategerekese nga Zakaria Mukasa asobodde okwemulula n’adduka wabula nebakwata ababiri bano.
Ye akulira okunoyereza ku misango ku poliisi ye Kalungu Edison Kaluhanga ategezezza nga abakwate bano bwebakizudde nti babadde baakayimbulwa okuva ku poliisi ye Ntungamu ku misango gy’okuwamba abantu.
Ate omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi ategezezza nga bwebakyanonyereza ku byogeddwa abakwate bano nti ekyambalo kino kyerabiddwamu omujaasi wa UPDF Jackson Atuhirwe.