Amawulire

Amawanga geegasse ku butujju- omu akwatiddwa

Ali Mivule

April 18th, 2015

No comments

Kaihura and Aronda

Abakulira poliisi mu mawanga ga East Africa bategeraganye okulondoola abasibe bonna abaali basingisiddwaako emisango.

Ssabaduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura agamba nti kino kijja kubayamba okulemesa abantu bano okuddamu okuzza emisango gyegimu nandiki n’okuzza egisinga

Kaihura ategeezezza nga kino era bwekijja okubayamba okulwanyisa ebikolw aby’ekitujju

Ab’ebyokwerinda mu mawanga ataano agakola East Africa bakukwatagana okulaba engeri y’okutuukirizaamu kino

yyo 

Poliisi e Mbale eriko omusajja agambibwa okubeera omutujju gw’ekutte.

Yusufu Ssebugwawo omusuubuzi e Mbale akwatiddwa abakola ku byobukuumi ababadde mu ngoye za poliisi ate ng’abalala tebambadde.

Ekibinja ky’ab’ebyokwerinda bano kikulembeddwaamu aduumira poliisi mu kitundu kino Jacob Opolot nga kikutte kompyuta eziwera n’ebiwandiiko ebinabayambako mu kunonyereza.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Diana Nandawula wabula agaanye okubaako ne ky’anyega

Aduumira poliisi y’eggwanga  Gen. Kale Kayihura, azze alabula abantu ku batujju b’agamba nti beesomye okukuba Uganda kale nga buli omu alina okubeera omwegendereza.