Amawulire

Musanvu beebagaala okusikira Otunnu

Ali Mivule

April 22nd, 2015

No comments

Munnakibiina kya UPC  David Pulkol asunsuddwa okwesimbawo ku bwa ssenkagale bw’ekibiina kino. Pulkol ne  Jimmy Akena bazze bawakanya enteekateeka ezinagobererwa mu kulonda kwa 2016 ezaafulumizibwa ssenkagale w’ekibiina kino Olara Otunu nga era bamulumiriza okweremeza mu ofiisi nga ekisanja kye kyaggwako dda. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina […]

babadde bavumirira ebiri e SouthAfrica batangiddwa okukumba

Ali Mivule

April 22nd, 2015

No comments

Poliisi erinye eggere mu kukumba kwabannakibiina kya Pan Africa Live Debate ababadde baagala okukwanga ekitebe ky’eggwanga lya South Africa ekiwandiiko ekivumirira ekitta bagwiira mu ggwanga lya South Africa. Ban babadde bategese okukumba okw’emirembe okukwanga omubaka w’eggwanga lya South Africa ekiwandiiko ku nsonga eno wabula poliisi […]

Eby’essomero lya Nabagereka biranze- Palamenti etabuse

Ali Mivule

April 22nd, 2015

No comments

Endoolito ku ttaka okwali kutuula essomero  lya  Nabagereka Primary School zikyalanda. Olwaleero akakiiko ka palamenti ak’enjawulo  akateekebwawo okulondoola ekibba ttaka mu Kampala okuli n’eryamasomero, kayimirizza okuzimba kwonna ku ttaka lino oluvanyuma lw’okusanga ebizimbibwa ku ttaka lino. Nga bakulembeddwamu ssentebe w’akakiiko, ba memba ku kakiiko kano […]

Amasanyalaze gamukazizza

Ali Mivule

April 22nd, 2015

No comments

Entiisa ebuutikidde abatuuze be Lwebitakuli mu disitulikiti ye Sembabule oluvanyuma lwomu ku banaabwe okukubibwa amasanyalaze n’afa. Abdullah Lubega 24 omutuuze mu kabuga ke Lwebitakuli y’akaliddewo oluvanyuma lw’okwanika olugoye ku waya y’amasanyalaze mu butanwa nga eno ebadde kumpi ne waya kwatera okwanika engoye. Omukwanaganya w’abakozesa n’okusasanya […]

Bbomu esse abalala 11 mu somalia

Ali Mivule

April 21st, 2015

No comments

Bbomu endala etegeddwa mu motoka ebalukidde mu mu maaso g’ekifo ekiriibwaamu emmere n’esse  abantu 11. Abatannaba kumanyika muwendo bbo bakoseddwa byansusso. Akafo omubadde bbomu kali mu maaso ga wooteri endala emanyiddwa nga Central Hotel ng’eno yettanirwa nnyo bannabyabufuzi. Bino bizza nga n’olunaku lwajjo era abatujju […]

Ebizigo babiyodde

Ali Mivule

April 21st, 2015

No comments

Ekitongole ekikola ku mutindo gw’ebintu olwaleero kikoze ekiwkekweto mu maduuka ag’enjawulo agatunda emizigo by’abakyala okujjamu ebicupuli Bano batuukidde ku kizimbe kya Gazaland ng’eno ebintu obuli kalifuuwa, ebizigo by’okwesiiga n’ebyo mu nviiri byebikwatiddwa Ebizigo bino ebisinga byaali byayitako emyaaka kkumi emabega Akulembeddemu ekikwekweto kino Gaston Kironde […]

KCCA esirise ku nsonga z’omwana eyattiddwa

Ali Mivule

April 21st, 2015

No comments

Ab’ekitongole kya KCCA bakyagaanye okubaako nekyebanyega ku ki tulakita ekyasse omwana eyabadde azannya . Olunaku lwajjo omugoba wa ki tulakita kino Patrick Mukwabi yawabye n’ayingirira abaana ababadde bazannya e Lugala mu divizoni ye Lubaga okukkakkana ng’asse omu. Omusajja ono kigambibwa okuba nga yabadde ayogerera ku […]

Emmotoka y’amaggye esse abantu

Ali Mivule

April 21st, 2015

No comments

Emmotoka y’amaggye ekoonye abantu babiri nebafiirawo. Baasi eno y’amaggye eno ekoonye aba bodaboda basatu wali e Bwaise kyokka babiri nebafa nga batuusibwa e Mulago Omwogezi w’amaggye g’omubbanga, Maj Tabaro Kiconco agamba nti ab’amaggye bano babadde bagenda Bombo nebagwa ku kabenje kyokka nga tewali alumiziddwa Tabaro […]

Tewali nsimbi za bululu- Kiggundu

Ali Mivule

April 21st, 2015

No comments

Ng’ebula emyezi kkumi gyokka okulonda omukulembeze w’eggwanga kubeewo, akakiiko k’ebyokulonda kagamba nti tekalina nsimbi zimala kutegeka kulonda kuno. Akakiiko kano kalina eddibu kya buwumbi 70. SSentebe w’akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu bino y’abyogedde bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka. Mu bitannaba kukolebwaako […]

Eyali akulira Egypt asibiddwa emyaka 20

Ali Mivule

April 21st, 2015

No comments

Eyali omukulembeze w’eggwanga lya Misiri  Mohammed Morsi akaligiddwa emyaka  20 mu kkomera lwakutta bekalakaasi abaali bamuwakanya nga akyaali mu buyinza. Guno gwegumu ku musango ogusinze Morsi kwejjo enkumuliito egigyamuvunanibwa. Gavumenti ya Morsi y’avuunikibwa amagye mu July 2013  oluvanyuma lw’enkumi n’enkumi z’abantu okwekalakaasa nga bawakanya obukulembeze […]