Amawulire

aba Kisekka beekalakaasizza- bana bazirise, 5 bakwate

Ali Mivule

April 28th, 2015

No comments

Abantu 4 baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga bali bubi oluvanyuma lw’okuziyira olw’omukka ogubalagala ogukubiddwa mu katale kewakisekka. poliisi ewaliriziddwa okukuba omukka ogubalagala okugumbulula abasuubuzi ababadde bavudde mu mbeera nga  olwa KCCA okubagoba ku nguudo webakolera mu kiseera nga akatale kaabwe kali mu kuzimbibwa.. […]

Burundi tennaba kutereera- 3 bafudde

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Amawanga agatali gamu gasabiddwa okuvaayo okutaasa embeera eri mu ggwanga lya Burundi ng’ekizimba tekinnasamba ddagala. Abantu babiri beebakafiira mu bulumbaganyi buno obuvumirira eky’omukulembeze ali mu ntebe Pierre Nkurunziza okuddamu okwesimbawo. Omwogezi wa FDC John Kikonyogo ategeezezza nti kano ke kaseera ebibiina nga Africa Union,kkooti y’ensi […]

Musisi mu Nepal- obuyambi bukyaali butono

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Okuddukirira abantu abakoseddwa Musisi mu ggwanga lya Nepal kugenda mu maaso nga n’abafukuula ettaka nabo bakola egyaabwe Abantu kati 3,726 beebagambibwa okuba nga bafudde ate abalala 6,500 nebalumizibwa. China, India, Pakistan ne Britain ageegamu ku mawanga agawaddeyo obuyambi. Eggwanga lya Nepal lyongedde okusaba obuyambi nga […]

Kagina y’akulira UNRA

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Allen Kagina kati y’akulira ekitongole kya UNRA ekikola ku by’enguudo. Ono asikidde Sebbuga Kimeze abadde anonyerezebwaako ku nsonga z’okubulankanya ensimbi z’oluguudo lwe Katosi Mukono n’ez’okuzimba eggali y’omukka. Kagina yakulembera ekitongole ekiwooza ekya URA okumala emyaka egisoba mu 10.

Kisakye aziikiddwa -bakungubazi bamutenderezza

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Abayimbi bakkukkulumidde abantu abababika nga tebannaba kufa Ng’ayogerera ku mukolo gw’okusabira omuyimbi Harriet Kisakye, akulira abayimbi ne bannakatemba mu ggwanga Andrew Benon Kibuuka agambye nti kino kibamalamu amaanyi n’okwongera okuwawaaza amawulire ate agatali matuufu. Yye ssabakisiritu wa eklezisa ya St Gyaviira e Bunnamwaaya, asabye abantu […]

ababba eza MTN gubasse mu vvi

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Abaali abakozi ba MTN mukaaga basingisiddwa omusango gw’okukozesa olukujjukujju okunyagulula kkampuni eno obuwumbi busatu Omulamuzi wa kkooti ekola ku gy’obukenuzi Paul Mugamba y’abasingisizza omusango oluvanyuma lw’okukakasa nti abajulizi 40 abaleetebwa oludda oluwaabi baakwatagana mu bujulizi bwaabwe Omulamuzi agambye nti akikakasizza nti abantu bano bekobaana nebabba […]

Amazzi pulezidenti geyatongoza tegatuukanga- Kalungu

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Abatuuze be Kyamuliibwa mu disitulikiti ye Kalungu ssibasanyufu n’ekyagavumenti okutongoza amazi ga payipu ku kitundu kyabwe wabula nga n’okutuusa kati tebalaba ku ttondo lya tuzzi.   Mu mwezi gwokusatu omwaka guno omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Kaguta Musevei yatongoza pulojekiti y’amazzi eno mu gombolola ye Kyamulibwa wabula […]

Abesenza ku kibira bagobeddwa

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Ekitongole ky’ebyebibira mu ggwanga kiragidde abatuuze abasoba mu 1000 abesenza ku ttaka ly’ekibira kye Kibaale okulyamuka nga olwokuna wiiki eno terunaggwako. Guno mulundi gwakubiri nga balagirwa okwamuka ettaka lino nga basooka kulagirwa kuvaawo nga August 30, 2014 wabula bannabyabufuzi nebabiyingiramu nebasigalawo. Akulira ekitongole kino mu […]

Aba Sudani balumbye abe Mukono

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Abatuuze mu gombolola ye  Goma naddala mu kibuga kye Seeta bali mu kutya olwabasudani  abayitirivu abeyiye mu kabuga nga n’abakulembeze baabwe twebamanyi kigenda mu maaso. Ssentebbe wa LC eyokusatu e Goma Erisa Mukasa Nkoyoyo atutegezezza nti nabo nga abakulembeze babalaba bulabi awatali kunyonyolwa kwonna kuva […]

Sinnaba kubba ku nkalala- Mbabazi

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Eyali ssabaminisita w’eggwanga  Amama Mbabazi asambazze ebigambibwa nti ab’enyumba ye bakweese olukalala okuli ba  memba b’ekibiina kya NRM . Mbabazi ne muwalawe Lina Mbabazi bazze babalumiriza okukweka olukalala luno nga kiwalirizza abakulira ekibiina kino okuddamu okuteekateeka olulala. Mbabazi agamba ssemateeka w’ekibiina kya NRM awa obukiiko […]