Amawulire
Kisakye aziikiddwa -bakungubazi bamutenderezza
Abayimbi bakkukkulumidde abantu abababika nga tebannaba kufa
Ng’ayogerera ku mukolo gw’okusabira omuyimbi Harriet Kisakye, akulira abayimbi ne bannakatemba mu ggwanga Andrew Benon Kibuuka agambye nti kino kibamalamu amaanyi n’okwongera okuwawaaza amawulire ate agatali matuufu.
Yye ssabakisiritu wa eklezisa ya St Gyaviira e Bunnamwaaya, asabye abantu okwetegekera okufa nga banyikiza eddini
Yye taata w’omugenzi omukulu Mukubyabyaasi,tasobodde kwogera olw’amaziga agabadde gamuyitamu era kojja w’omugenzi Father Andrew Senyonga y’amuyambyeeko.
Yye eyali akulira ekibiina kya FDc Dr Kiiza Besigye agamba nti namungi w’omuntu eyetabye mu kuziika omugenzi kaboneroa kalaga nti omugenzi abadde muganzi eri abantu
Besigye agamba nti abantu basaanye okukozesa obulungi emyaka gyaabwe.