Amawulire

Omu ku bebayiridde asidi afudde

Ali Mivule

April 29th, 2015

No comments

Omu ku bantu 6 ab’enyumba emu abaayiriddwa asidi afudde. Omukaaga bano  banyumba emu e wabiyinja mu gombolola ye masuulita .   Afudde yemwami Henry ssozi nga bbo abalala okuli mukyalawe Agnes Kigongo bakyali mu ddwaliro ekkulu e Mulago bali bubi.   Omukaaga bano olunaku lweggulo […]

Kabaka w’abasongora afudde

Ali Mivule

April 29th, 2015

No comments

N’okutuusa kati abantu mu bukama bw’abasongola bakyakungubaga oluvanyuma lw’Omukulembeze waabwe ow’enono  Rwidi Ivan Bwebale IV okufa. Omugenzi y’afudde ekiro ssaawa ssatu n’ekitundu ku ddwaliro lya Kadic e Bukoto gyeyatwalibwa nga ali bubi. Okusooka omugenzi y’atwalibwa mu ddwaliro e Nsambya gy’abadde okumala wiiki 3 okutuusa lweyatwaliddwa […]

Ssabasajja asiimye okugenda e Buruuli

Ali Mivule

April 28th, 2015

No comments

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi asiimye okulabikako eri Obuganda okuva nga 1 okutuuka nga 2 omwezi ogujja mu ssaza lye Buluuli. Omutanda era eno gyagenda okuggulirawo emipiira gy’amasaza ku kisaawe e Migeera. Bw’abadde atongoza emipiira gy’amasaza, Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye […]

Nepal- abafudde bandiwera omutwalo

Ali Mivule

April 28th, 2015

No comments

Embeera eri mu ggwanga lya Nepal yakazigizigi kenyini ng’abakaafa basusse mu 5000 ate nga basuubirwa okutuuka ku mutwalo Bano balumbiddwa Musisi eyasudde ebizimbe nga negyebuli kati abantu bakyaali wansi wa mafufungu Abaddukirize bakola kyonna ekisoboka okutaasa abantu kyokka nga n’abalamu embeera etabuse olw’ebikozesebwa Ebibiina ebitali […]

Aba MTN basibiddwa emyaka 9

Ali Mivule

April 28th, 2015

No comments

Abakozi ba MTNmukaaga abasingisiddwa omusango gw’okunyaga obuwumbi 3 basibiddwa emyaka mwenda Ekibonerezo kibasaliddwa omulamuzi Paul Mugamba. Omulamuzi era alagidde poliisi okuzza obukadde 800 zeyasanga n’abakozi bano Omulamuzi wabula agambye nti bano ssi bakuliwa kubanga bakizudde nti babadde betowaze kyokka nga balina okubonerezebwa Ono agambye nti […]

Obukadde munaana bakoseddwa Musisi mu Nepal

Ali Mivule

April 28th, 2015

No comments

Abantu obukadde 8 bebakoseddwa Musisi eyayugumizza eggwanga lya Nepal nga bano kimu kyakuna ku bantu bonna abali mu ggwanga lino. Amawanga ag’enjawulo gatandise okuweereza obuyambi eri eggwanga lino wabula nga akakadde ka doola akasoba mu kalamba kakyetagibwa okugula emmere okusinziira ku kibiina ky’amawanga amagatte. Abantu […]

Poliisi ekutte omusawo w’ekinnansi omufere

Ali Mivule

April 28th, 2015

No comments

Poliisi ye  Masaka eriko omusawo w’ekinansi gwekutte lwakubba obukadde 5 okuva eri omukozi wa mobile Money. Apollo Bwebale omutuuze ku kyalo  Kijonjo –Naluzali Village  y’akwatiddwa olwokubba Florence Nalukenge  ku luguudo lwa Elgin. Kigambibwa nti omusawuzi ono y’alimbalimba omukyala ono nga ssente z’abadde akozesa mu mobile […]

Kiyingi bamwongedde obudde okugenda mu kkooti

Ali Mivule

April 28th, 2015

No comments

Kkooti ye nakawa eyongeddeyo akadde  omusawo munnayuganda awangalirira mu ggwanga lya Australia Dr. Aggrey Kiyingi  okweyanjula mu kkooti. Kiyingi kati alagiddwa okudda mu kkooti nga 26 May oluvanyuma lw’enfunda 2 nga ayitibwa okweyanjula wabula natalabikako. Omuwaabi wa gavumenti Anne Ntimba asabye kkooti okwongera omusango guno […]

Abantu bajjumbidde enkalala

Ali Mivule

April 28th, 2015

No comments

Nga nsalesale w’okulongoosa enkalala z’abalonzi agenda asemberera okuggwako, bannayuganda ab’enjawulo bajumbidde okwekebera. Akakiiko k’ebyokulonda gyebuvuddeko kaalabudde nga bwekatagenda kwongezaayo nsalesale ono aggwako ku lwokuna luno. Ebibiina byobwanakyewa ebirwanirira enkola ya demokulasiya mu ggwanga byongedde okukoowola bannayuganda okujumbira okukebera amanya gaabwe ku nkalala z’abalonzi mu kulongoosa […]

Omu afiiridde mu kabenje, basatu balumiziddwa

Ali Mivule

April 28th, 2015

No comments

Omuntu omu afiiriddewo mu kabenje akagudde wali e Nyendo mu disitulikiti ye  Masaka.   Akabenje kano kavudde ku kiloole namba UAG 901Y okulemererwa omugoba waakyo nekikuba ekinnya nekiyingirira omuvuzi wa bodaboda omu n’afiirawo.   Loole eno era eyingiridde  taxi ebadde edda e Mutukula n’erumya abantu […]