Amawulire

Ssabasajja asiimye okugenda e Buruuli

Ali Mivule

April 28th, 2015

No comments

Kabaka arrives in Kayunga

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi asiimye okulabikako eri Obuganda okuva nga 1 okutuuka nga 2 omwezi ogujja mu ssaza lye Buluuli.

Omutanda era eno gyagenda okuggulirawo emipiira gy’amasaza ku kisaawe e Migeera.

Bw’abadde atongoza emipiira gy’amasaza, Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti omutanda wakulambula amagombolola okuli  Kalongo ne Nabinyonyi , era nga wakulambula ensisira z’ebyobulamu wamu n’okugaba endokwa z’emwaanyi.

Mayiga era anyonyodde  amakulu agali mu mipiira gy’amasaza nategezeza nti gitumbudde ebitone mu ggwanga.

Ye Minister w’emizanyo mu bwakabaka Henry Ssekabembe agambye nti ku mulundi guno bataddewo amateeka amakakali okwewala efujjo wamu n’okuzanyisa abazanyi amamenya amateeka mu mpaka zino