Amawulire
Omu afiiridde mu kabenje, basatu balumiziddwa
Omuntu omu afiiriddewo mu kabenje akagudde wali e Nyendo mu disitulikiti ye Masaka.
Akabenje kano kavudde ku kiloole namba UAG 901Y okulemererwa omugoba waakyo nekikuba ekinnya nekiyingirira omuvuzi wa bodaboda omu n’afiirawo.
Loole eno era eyingiridde taxi ebadde edda e Mutukula n’erumya abantu 3.
Mu ngeri yeemu
E Mukono abantu 2 bafiiridde mu bubenje obw’enjawulo okubadde n’akulira eby’obutonde bw’ensi mu disitulikiti eno Kanakulya Banga .
Ono atomeddwa emmotoka nafirawo wali mu Namanve bwabadde ava ku mulimu emmotoka etanategerekeka.
Mungeri yeemu Mmotoka eyekika kya Canter ebadde ewenyuka obuweewo ku luguudo lwe Namuyenje etomedde omwana abadde asala ekkubo nafirawo.
Omugenzi ategerekeseeko nga Arnold Kabuye ngabadde atemera mu myaka 14 mutabani wa Nakamatte amanyiddwa nga Mulongo, abatuuze be Namuyenje mu gombolola ye Nakisunga e Mukono.
Atwala poliisi ye Seeta Nazigo OC Were Sam akakasizza akabenje kano nategeeza nti kavudde ku kuvugisa kimama na ndiima nayongerako nti okunonyereza ku mmotoka eno kutandise era omugoba waayo wakukwatibwa avunanibwe.
Gwo omulambo oluvanyuma gujidwawo negutwalibwa mu gwanika e Mukono.