Amawulire

Nepal- abafudde bandiwera omutwalo

Ali Mivule

April 28th, 2015

No comments

nepal quake

Embeera eri mu ggwanga lya Nepal yakazigizigi kenyini ng’abakaafa basusse mu 5000 ate nga basuubirwa okutuuka ku mutwalo

Bano balumbiddwa Musisi eyasudde ebizimbe nga negyebuli kati abantu bakyaali wansi wa mafufungu

Abaddukirize bakola kyonna ekisoboka okutaasa abantu kyokka nga n’abalamu embeera etabuse olw’ebikozesebwa

Ebibiina ebitali bimu bikyagenda mu maaso n’okutuusa obuyambi kyokka nga tebumala

Ssabaminisita w’eggwanga lino agamba nti nabo bibasobedde