Amawulire

Aba alshabaab baweddemu- Museveni

Ali Mivule

April 25th, 2015

No comments

Pulezidenti Yoweri Museveni agamba waliwo obwetaavu bw’okwegatta okulwanyisa abatujju ba Alshabaab abatabuse ennaku zino Mu kiwandiiko pulezidenti ky’asindikidde emikutu gy’amawulire, agambye nti akabinja kano okutandika okulumba abantu ba bulijjo kiraga nti tekalina mulamwa Agamba nti kyenyamiza okulaba nti aba alshabaab balumba supamaketi, n’abayizi abatalina musango […]

Mundopeere abalamuzi abalya enguzi-ssabalamuzi

Ali Mivule

April 25th, 2015

No comments

Ssabalamuzi w’eggwanga Bart Katureebe asabye bannayuganda abamanyi abalamuzi abalya enguzi okubamulopeera Katureebe agamba nti awulira abantu bangi nga bagamba nti abalamuzi balya enguzi kyokka nga bw’aba tamanyi mannya talina w’atandikira Katureebe abadde ayanukula okwemulugunya okukoleddwa eyali omulamuzi George Wilson Kanyeihmba agambye nti abalamuzi bangi abaloopeddwa […]

Bazize amaduuka ga bannansi ba South Africa

Ali Mivule

April 25th, 2015

No comments

Banansi b’eggwanga lya Malawi beesuddemu akambayaya nebagaana okuddamu okugula ebintu mu maduuka gabanansi ba South Africa agasangibwa mu ggwanga lino, olw’ekitta bagwiira ekigenda mu maaso mu ggwanga lino. Maduuka aga ba south Africa gasigadde magala olunaku olwalero. Mu kibuga ekikulu  Blantyre, poliisi eyiriddwa okusobola okukuuma […]

Ba ssentebe bazize obugaali

Ali Mivule

April 25th, 2015

No comments

Ba ssentebe ba LC esookerwaako e Wakiso bazize obugaali obwabawereddwa gavumenti okutambuza emirimu gyaabwe nga bagamba nti tebubajaamu Okutuuka ku kino kiddiridde, akulira abakozi e Wakiso, David Naluwayiro okubategeeza nti pulezidenti yabasuubizza nti ba ssentebe bonna bakufuna obugaali basobole okwanguyirwa ku mirimu. Ba ssentebe bano […]

Muddeemu okulima- Muliika

Ali Mivule

April 25th, 2015

No comments

Eyali Katikkiro wa Buganda Daniel Muliika asabye abantu okwettanira eby’obulimu mu kifo ky’okusabirizanga gavumenti . Owek. Muliika agamba nti bannayuganda basobola okwegobako obwaavu ssinga gavumenti ekendeeza ku nsimbi z’essa mu ttiyagaasi n’emmundu n’ezissa mu bulimi naddala obw’amatooke n’emmwanyi Ono era alabudde abantu okwewala eby’obufuzi ebyawula […]

Omukinjaaji abbye Embuzi nebamuloga n’afa

Ali Mivule

April 24th, 2015

No comments

  E Bukomansimbi Waliwo omukinjaaji abbye embuzi y’omutuuze atabbika okukakana nga amuloze n’afa nga akaaba nga yo. Niga Ssekabira bukyanga abba mbuzi ku kyalo ekiriranyewo abadde akaaba nga nakabege nga era atambula nga yo ssaako n’okuleekanira waggulu nti mubbi wambuzi. Ssekabira afudde yegayirira nanyini mbuzi […]

Ekkolera lya Crestfoam liguddwawo

Ali Mivule

April 24th, 2015

No comments

  Kyaddaaki ekkolero ly’emifaliso erya Crest foam liguddwawo oluvanyuma lw’omuliro ogwakwta ebizimbe mwerili nemufiiramu abantu 6. Minisita w’abakozi  Kamanda Bataringaya ategezezza nga ekkolero lino bwerituukirizza ebyetagisa okukuuma abakozi ku mirimu nga kati baddembe okuggulawo. Bataringaya agamba alipoota ku muliro guno yakufuluma era esomebwe eri bannayuganda […]

Gavumenti erabuddwa ku ddagala lya DDT

Ali Mivule

April 24th, 2015

No comments

  Gavumenti erabuddwa okukomya okukozesa eddagala lya DDT mu kufuuyira ensiri okulwanyisa omusujja gw’ensiri. Okusinziira ku kunonyereza okukoleddwa ab’ekibiina ekirwanyisa omusujja gw’ensiri ekya Uganda Network on Toxic Malaria Control, eddagala lya DDT lirimu ebirungo ebyomutawaana eri obulamu bw’abantu. Nga ayogera ku mikolo gy’olunaku lw’omusujja gwa  […]

Aba UTL babanja

Ali Mivule

April 23rd, 2015

No comments

Akakiiko ka palamenti akakola ku byuma bikali magezi ne tekinologiya kagaala gavumenti yeddize kkampuni y’essimu eya UTL Kiddiridde kkampuni eno okulemerwra okutuukiriza ebiruubirirwa ebyassibwaawo akakiiko akakola ku byempuliziganya nga kati ebanjibwa obuwumbi obukunukkiriza mu 13 byempuliziganya nga kati ebanjibwa obuwumbi obukunukkiriza mu 13 Ssentebe w’akakiiko kano […]

Poliiisi yeetaga zakulonda

Ali Mivule

April 23rd, 2015

No comments

Ng’ebula emyezi kkumi eggwanga libe n’okulonda okw’awamu, poliisi yeetaga obuwumbi 204 . Zino zakukola ku bya kwerinda mu biseera by’okulonda Ng’alabiseeko mu kakiiko akakola ku by’okwerinda, minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen. Aronda Nyakairima agambye nti balina bingi eby’okukola ebitannaba kukwatibwaako kale nga […]