Amawulire
Aba alshabaab baweddemu- Museveni
Pulezidenti Yoweri Museveni agamba waliwo obwetaavu bw’okwegatta okulwanyisa abatujju ba Alshabaab abatabuse ennaku zino
Mu kiwandiiko pulezidenti ky’asindikidde emikutu gy’amawulire, agambye nti akabinja kano okutandika okulumba abantu ba bulijjo kiraga nti tekalina mulamwa
Agamba nti kyenyamiza okulaba nti aba alshabaab balumba supamaketi, n’abayizi abatalina musango era nga kino akitadde ku maanyi agabaweddemu mu ggwanga lya Somalia
Pulezidenti agamba amawanga ga Africa keekadde geegatte okulemesa aba alshabaab bano okuddamu okwezza Somalia