Amawulire

Munnayuganda afiiridde e Somalia

Ali Mivule

April 21st, 2015

No comments

Munnayuganda akakasiddwa  okuba omu kwabo abafiiridde mu bulumbaganyi bw’abatujju ba Al shabab abateze bbomu ku baasi y’abakozi b’ekibiina ky’amawanga amagatte mu ggwanga lya Somalia. Kino kikakasiddwa ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku nsonga z’abaana ekya UNICEF. UNICEF omugenzi emumenye nga Brenda Kyeyune nga era akoledde […]

Musumba awagidde Kadaga

Ali Mivule

April 21st, 2015

No comments

Enkola yabanabyabufuzi okwagala okwesimbawo awatali abavuganya eyongedde  okukwata abalala  omubabiro nga kati  etuuse ne mu babaka ba palamenti . Amyuka ssentebe w’ekibiina kya FDC  Salam Musumba asembye sipiika wa palamenti era omubaka omukyala ow’e Kamuli Rebecca Kadaga yesimbewo awatali amuvuganya. Musumba era abasabye abantu b’e […]

Abalumbye e Kyegegwa ssibayekeera

Ali Mivule

April 21st, 2015

No comments

Amagye gajunguludde ebigambibwa nti abayeekera bebaalumbye disitulikiti ye Kyegegwa. Kino kiddiridde ebyafulumidde mu mawulire nga bwewaliwo bamukwata mmundu 7 abaabadde n’amafumu abaalumbye disitulikiti eno nebawamba n’omuntu omu wabula oluvanyuma nebamuyimbula awatali kakwakulizo konna. Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokubiri  Maj Ronald Kakurungu ategezezza nga bano bwebateberezebwa okubeera […]

Poliisi ebatutte tebalinnya

Ali Mivule

April 21st, 2015

No comments

Poliisi egumbuludde   ekibinja ky’abatuuze e Kawempe abakedde okwesala omugujje nga baagala kafulu w’okuvuga emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka ayimbulwe mangu. Bano kubaddeko abavuzi ba bodaboda ne bannabyabufuzi nga balaga obutali bumativu n’engeri omusango gwa Lwakataka gyegukwatiddwamu. Bano bagamba Lwakataka awa abantu banji emirimu mu kitundu kino […]

Kabaka we Zulu asabye okulumba abagwiira kukome

Ali Mivule

April 20th, 2015

No comments

Kabaka waba Zulu Goodwill Zwelithini asabye bannansi ba South Africa okusigala nga bakkakkamu era balekere awo okutta abagwiira Omukulu ono abadde asongeddwaamu olunwe okuvaako obulumbaganyi buno obwakafiiramu abantu musanvu. Abantu abasoba mu 300 bakwatiddwa olw’okukola effujjo. Enkumi n’enkumi z’abantu beebakungaanye okuwulira obubaka bwa kabaka ono […]

Ettemu- basatu battiddwa

Ali Mivule

April 20th, 2015

No comments

Omusajja afumise mukozi munne ekiso n’amuttirawo lwakumusanga ng’akwata mu ka seefu. Isa Arinaitwe ng’abeera Fortportal y’afumise Faisal Mpagi ow’emyaka 22 namutirawo . Mpagi kati omugenzi asanze Arinaitwe nga abba sente mu loogi ya Pentagon guest house esangibwa e Kawempe n’amufumita ekiso kyokka nga naye amaze […]

Abakozi mu Orange Telecom bagobeddwa

Ali Mivule

April 20th, 2015

No comments

Abakozi ba Orange Telecom abasoba mu 50 beebatalina mirimu wetwogerera Bano bafunye leero ebbaluwa ezibaraga nti tebakyaali bakozi ba kkampuni ya Orange KKampuni ya Orange yagulwa eya Africel omwana oguwedde era ng’abakozi okuva olwo babadde ku bunkenke Kati ekibiina ekirwanirira ensonga z’abakozi ekya NOTU kiyingidde […]

Ebibiina biwereddwa ssente

Ali Mivule

April 20th, 2015

No comments

Gavumenti olwaleero ewadde ebibiina by’obufuzi obuwumbi kkumi okwetegekera okulonda kwa 2016 Kino kirangiriddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kiggundu bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olweggulo lwaleero. Kiggundu agamba nti ensimbi zino zakugabanwa wakati w’ekibiina mukaaga ebirina ababaka mu palamenti. Muno mwemuli aba DP, UPC, JEEMA, FDC, […]

Temuseera mazzi- Kibuule

Ali Mivule

April 20th, 2015

No comments

Minisita wa mazzi omugya Ronald Kibuule alagidde abatunda amazzi ekidomola obutasussa siringi 100. Bino abyogedde  atongozza amazzi aga National Water agatuuse ku kyalo Lwanyonyi nga abeeno bamaze ebbanga nga amazzi ga kekwa. Abatuuze okusinga babadde bakozesa bidiba n’okulembeka ag’enkuba yadde nga  ekitundu kino kyesudde kirometre […]

Omupoliisi yesse lwakubuza mmundu

Ali Mivule

April 20th, 2015

No comments

Atwala poliisi ya Ogom mu disitulikiti ye Pader yewadde eddagala erifuuyira ensiri neyetta lwakulememerwa kuzuula mmundu ezamubbibwako ku nkomerero y’omwaka oguwedde. Charles Ocakacon taata ow’abaana 6 yeyejje mu budde oluvanyuma lw’emmundu z’eyali aterese ewuwe okubibwa nga agenze ne mukyalawe mu Katale okugula ebyomumaka. Omuserikale ono […]