Amawulire

Musumba awagidde Kadaga

Ali Mivule

April 21st, 2015

No comments

Kadaga Seeds 1

Enkola yabanabyabufuzi okwagala okwesimbawo awatali abavuganya eyongedde  okukwata abalala  omubabiro nga kati  etuuse ne mu babaka ba palamenti .

Amyuka ssentebe w’ekibiina kya FDC  Salam Musumba asembye sipiika wa palamenti era omubaka omukyala ow’e Kamuli Rebecca Kadaga yesimbewo awatali amuvuganya.

Musumba era abasabye abantu b’e Kamuli obutawuliriza ngambo nti ayagala kusiggukulula Kadaga nti era tekisoboka kubaawo.

Ategezezza nga Kadaga bwakoledde enyo abantu b’e Kamuli kale nga mukumusiima basaabye okumuleka yesimbewo awatala amuvuganya .

Gyebuvuddeko ab’ekibiina kya NRM baasemba omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yesimbewo awatali amuvuganya nga n’aba mawogola baagala omubaka Sam Kuteesa aleme kuvuganyizibwa mu kamyufu