Amawulire

Munnayuganda afiiridde e Somalia

Ali Mivule

April 21st, 2015

No comments

UN staff

Munnayuganda akakasiddwa  okuba omu kwabo abafiiridde mu bulumbaganyi bw’abatujju ba Al shabab abateze bbomu ku baasi y’abakozi b’ekibiina ky’amawanga amagatte mu ggwanga lya Somalia.

Kino kikakasiddwa ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku nsonga z’abaana ekya UNICEF.

UNICEF omugenzi emumenye nga Brenda Kyeyune nga era akoledde ebibiina by’obwanakyewa ebyenjawulo.

Abantu 6 bebaafiiridde mu bulumbaganyi buno nga kwabaddeko bannakenya 2 ssaako ne munansi w’eggwanga lya Afghanistan

Omwogezi wa UNICEF wano mu ggwanga Catherine Ntabadde akakasizza ensonga eno.

Mungeri yeemu ekitongole kya  UNICEF kitegezezza nga bwekikenenya embeera mu ggwanga lya Somalia nga tebanalowooza ku kukomekereza  mirimu gyabwe mu ggwanga lino.

Akulira ebyamawulire by’ekitongole kino mu Somalia James Elder ategezezza nga bwebakolagana n’abebyokwerinda mu kitundu kye Garowe okwetegereza embeera y’ebyokwerinda.

Bbo abana abaalumiziddwa baatwaliddwa dda e Nairobi mu ggwanga lya Kenya okujanjabibwa.

Abatujju ba Al shabab bewanye dda nga bwebaakoze obulumbaganyi buno.