Amawulire

Ekimotoka kisaabadde enyumba

Ali Mivule

April 17th, 2015

No comments

Omwana ow’emyaka 4 afiiridde mu kabenje akagudde wali ku luguudo lw’e Masaka oluvanyuma lw’ekimotoka ki lukululana okusaabala amaka g’omutuuze. Ekimotoka kino namba UAP 545S kiremeredde omugoba waakyo nekisaabala amaka ga Christine Natumbwe nekitta omuzzukulu Leticia Namiiro,  ate abantu abalala 9 bawereddwa ebitanda ng’embeera mbi nyo. […]

Afande omala atwaliddwa Busoga

Ali Mivule

April 17th, 2015

No comments

Ssabaduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura nate azzeemu okukola enkyukakyuka mu basirikale ba poliisi. Abadde omuduumizi w’ebikwekweto mu Kampala n’emirirwaano Afande Sam Omala atwaliddwa mu bitundu bwe Busoga ng’omumyuka w’akulira poliisi mu kitundu kino. Omala asikiziddwa Superintendent of Police Rashid Agero. Amyuka kamisona […]

Supreme mufti aziikibwa nkya

Ali Mivule

April 16th, 2015

No comments

Sheikh Zubair Kayongo wakuziikibwa olunaku olw’enkya Buswabulongo, Lwamatta mu distulikiti ye Kiboga Wabula wajja kubaawo okusaalira omugenzi e Kibuli ku muzikiti ku ssaawa bbiri. Kayongo afudde enkya ya leero oluvanyuma lw’okuweebwa ekitanda mu Tanzania ng’atawanyizibwa ekirwadde kya puleesa ne sukaali Bbo abasiramu bakyagenda mu maaso […]

ba minista bawagidde NEMA ku kaveera

Ali Mivule

April 16th, 2015

No comments

Olukiiko lwa ba minisita olutudde olwaleero lusazeewo nti nsalessale ku buveera essigalewo. Kino kiddiridde aba NEMA okulemera ku ky’okuwera obuveera yadde ssabaminisita Dr Ruhakana Rugunda yabasabye bawe aba ssemaduuka obudde Ekiwandiiko ekifulumiziddwa offisi ya ssabaminista kiraze nti aba NEMA basigale nga bakola emirimu nga bwebateese […]

Teri munnayuganda yakoseddwa mu South Africa- Gavumenti

Ali Mivule

April 16th, 2015

No comments

Gavumenti egamba nti tewali munnayuganda yakoseddwa mu mivuyo egigenda mu maaso mu ggwanga lya South Africa. Omubaka wa Uganda mu South Africa Julius Peter Moto agambye nti embeera ekyaali ya bunkenke era nga baayisizza dda ekiwandiiko ekirabula bannayuganda okubeera obulindaala Abagwiira abaddugavu bataano beebakattibwa mu […]

Mwenda bafiiridde mu kabenje

Ali Mivule

April 16th, 2015

No comments

Abantu 9 bafudde oluvanyuma lw’eryato kwebabadde basaabalirira okwebika mu Nyanja Albert. Mu bafudde kubaddeko n’omwana ow’omwaka ogumu nekitundu. Abasaabaze okusinga babadde basuubuzi nga babadde bava Obira mu katale ke Purongo mu disitulikiti ye Nebbi. Omukubiriza w’olukiiko lw’egombolola ye Porongo Samson Lukwiya ategezezza nga abantu 18 […]

Supreme Mufti Zubair Kayongo afudde

Ali Mivule

April 16th, 2015

No comments

Supreme Mufti Shk Zubair Kayongo afudde. Supreme Mufti afiiridde ku myaka 74 mu ddwaliro lya Aga khan mu kibuga Darasalam mu ggwanga lya Tanzania. Omwogezi w’omuzikiti gwe kibuli sheikh  Hassan Kirya  ategezezza nga bwebali mu lukiiko okulaba engeri gyebazzamu omulambo gw’omugenzi. Ye Imam wa palamenti […]

Gavumenti enaakyusa ebisomesebwa

Ali Mivule

April 15th, 2015

No comments

Minisitule y’ebyenjigiriza yetaaga obuwumbi nga 100 okuddamu okwetegereza ensengeka y’ebirina okusomesebwa mu pulayimale omwaka 2017 wegunatuukira. Ensengeka eno empya erimu amassomo g’emikono, bizineesi n’ebirala. Amyuka kamissiona w’ebyenjigiriza ebyawaggulu Kule Baritazale, ensengeka eno yakoleddwa okulaba nga abayizi bakola nyo ebintu by’emikono okubasobozesa okutendekebwa mu mirimu gyemitwe. […]

Obuveera bw’oluwewere bulina okuvaawo- NEMA

Ali Mivule

April 15th, 2015

No comments

Abakyakozesa obuveera bubakeeredde. Ab’ekitongole ekirwanirira obutonde bwensi ekya NEMA olwaleero lwebatandika okuteeka mu nkola etteeka ly’okuwera obuveera bwonna obw’oluwewere. Wabula kino kijidde mu kiseera nga akulira ekibiina kyabannamakolero Ssebagala Kigozi kyajje ategeeze nga etteeka ku kuwera obuvera buno bwelyayimiriziddwa oluvanyuma lwokusisinkanamu ssabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda. […]

Teri kuwera buveera

Ali Mivule

April 14th, 2015

No comments

Enteekateeka y’ekitongole ekikola ku butonde bwensi okuwera okukozesa akaveera erabika nga egudde butaka, oluvanyuma lwa gavumenti okulangirira nti buli kimu kiyimirizibwe. Bino okutuuka wano, kiddiridde bannabyabusuubuzi okusisinkanamu  ssabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda nebakkaanya nti kino sikyakumala gateekebwa mu nkola nga tebemaze kwetegeke Akulira ekibiina ekitaba bannamakolero […]