Amawulire

Teri munnayuganda yakoseddwa mu South Africa- Gavumenti

Ali Mivule

April 16th, 2015

No comments

xenophobia

Gavumenti egamba nti tewali munnayuganda yakoseddwa mu mivuyo egigenda mu maaso mu ggwanga lya South Africa.

Omubaka wa Uganda mu South Africa Julius Peter Moto agambye nti embeera ekyaali ya bunkenke era nga baayisizza dda ekiwandiiko ekirabula bannayuganda okubeera obulindaala

Abagwiira abaddugavu bataano beebakattibwa mu kibuga Durban nga babalanga kwezza mirimu gya bannansi.

Ggo amaduuka g’aba somali gamenyeddwa abavubuka bannansi ab’effujjo obwedda abookya n’ebipiira

Wabula omubaka wa Uganda ono omukulu Moto agamba nti olunaku lwajjo, waliwo munnayuganda eyattiddwa abazigu n’abalala babiri nebalumizibwa kyokka ng’ebyaabwe tebyekuusa ku kutta abagwiira okugenda mu maaso.

Ono agambye nti bannayuganda abasinga bali mu Johannesburg ng’ate eno tewannaba kubaayo buvuyo

Yye omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Fred Opolot agamba nti bakyalondoola embeera nga bwebateesa n’abakulu abali mu south Africa

Bannayuganda abali mu South Africa bakunukkiriza mu mitwalo 20 kyokka nga bandiba nga basingawo kubanga abasinga tebagenda mu butuufu.

Mu mwaka 2008, abantu 62 beebattibwa mu ttemu lyerimu eri abagwira

Enkumi n’enkumi z’abantu bakumbye mu kibuga Durban ekya South Africa okuvumirira ebikolwa by’okutirimbula abagwiira abaddugavua babadde basangibwa

Abategese okukumba kuno bagamba nti abantu abali mu mutwaalo beebakwetabyeemu okuvumirira okuttibwa kw’abantu bataano abagwiira n’okunyagulula amaduuka gaabwe

Yye kabaka w’aba Zulu alumbiddwa olw’okwogera ebigambo ebikuma mu bantu omuliro.

Bannansi ba South Africa abatalina mirimu bakyukidde abagwira abaddugavu mu ggwanga lino nga babalumiriza okubatwalako emirimu

Omukulembeze w’eggwanga lino Jacob Zuma naye avumiridde dda ekikolwa kino.