Amawulire

aba Kisekka beekalakaasizza- bana bazirise, 5 bakwate

Ali Mivule

April 28th, 2015

No comments

kisekaa demo

Abantu 4 baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga bali bubi oluvanyuma lw’okuziyira olw’omukka ogubalagala ogukubiddwa mu katale kewakisekka.

poliisi ewaliriziddwa okukuba omukka ogubalagala okugumbulula abasuubuzi ababadde bavudde mu mbeera nga  olwa KCCA okubagoba ku nguudo webakolera mu kiseera nga akatale kaabwe kali mu kuzimbibwa..

Bbo abantu 5 bakwatiddwa mu kavuvungano akabaddewo.