Amawulire

ababba eza MTN gubasse mu vvi

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Justice

Abaali abakozi ba MTN mukaaga basingisiddwa omusango gw’okukozesa olukujjukujju okunyagulula kkampuni eno obuwumbi busatu

Omulamuzi wa kkooti ekola ku gy’obukenuzi Paul Mugamba y’abasingisizza omusango oluvanyuma lw’okukakasa nti abajulizi 40 abaleetebwa oludda oluwaabi baakwatagana mu bujulizi bwaabwe

Omulamuzi agambye nti akikakasizza nti abantu bano bekobaana nebabba ensimbi okuva mu akawunti ya MTN okudda ku akawunti ka Mobile mane nga bakimanyi nti kyakufiiriza kkampuni ensimbi.

Wabula abalala basatu beyimiriddwa olvanyuma lw’okuzuula nti bbo baali tebali mu lukwe

Bano kigambibwa okuba nti nga 25 January omwaka 2013 babba obuwumbi busatu nga basinziira ku ofiisi za MTN ku luguudo lwa Yusuf Lule.

Bakusmerwa ekibonerezo olunaku lw’enkya.