Amawulire

Nandos ne Mateos biggaddwa lwa misolo

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority kigadde ebbaala ya Mateos ne Nandos lwa misolo Mateos bagibanja obukadde 150 ate Nandos ebangibanja obukadde 250. Omwogezi w’ekitongole kino, Allan Sempebwa agamba nti baludde nga babanja abaddukanya ebifo bino kyokka nga tebenyeenya Sempebwa wabula agamba nti oluvanyuma lw’okuggalawo […]

Ebola atuuse Congo

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Ab’ebyobulamu mu ggwanga lya Congo bakakasizza nga ekirwadde kya Ebola byekilumbye eggwanga lyaabwe. Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga lino  Felix Numbi akakasizza nga abantu 2 bwebazuuliddwa nga balina Ebola ono mu ssaza lye Equateur oluvanyuma lw’abantu abenjawulo okutandika okufa mu ngeri etategeerekeka. Wabula ab’ebyobulamu bagamba ebola […]

Ttiyagaasi e Masaka

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Poliisi e  Masaka ekubye omukka ogubalagala okugumbulula abatuuze mu kabuga k’ekidda abakedde okwekalakaasa lwakumala bbanga nga tebalina masanyalaze. Bano batadde emisanvu mu makubo gonna agayunga ku tawuni y’emasaka nga era bagookyerezzamu ebipiira. Abatuuze bano bagamba baakamala ennaku 4 mu kibululu bukyanga aba UMEME batwala tulansifooma […]

Laddu esse omwana

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyaalo Lusalira mu gombolola ye Banda Mityana Laddu bw’ekubye omwana w’essomero lya Kizito S.S n’afiirawo Omugenzi ye Joseph Walusimbi ng’abadde asoma siniya esooka era nga laddu okumukuba emusanze mu kazigo mw’abadde asula ne munne ategerekeseeko erya Julius. Laddu eno eggyidde mu […]

aba Taxi beedimye- abantu batambuzza bigere

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Bannakampala amakya galeero bakedde kutambuza bigere oluvanyuma  lw’abamu  ku basaabaza abantu wano mu kampala okuteekawansi ebikola wansi ebikola nga bwebasuubiza. Akeediimo kano kalese abantu abawerako bakonkomaliridde ku nguudo awatali abatwaalako. Abagoba b’ebidduka bino nga begatira mu kibiina kyaabwe ekya  National Union of Drivers, Cyclists and […]

Abatuuze be Namayingo baakubalibwa

Ali Mivule

August 24th, 2014

No comments

  E Namayingo kyadaaki abakungu okuvva mu uganda  ne Kenya bakiriziganyizza ku ky’okubala abantu ababeera ku kazinga ke migingo, akaludde nga kaliko  enkaayana. Bino okutuukibwako kidiridde ensisinkano wakati w’omubaka wa president mu district ye Namayingo Mpimbaza Ashaka kkone nemunne gwebafanaanya emirimo mu district ye Nyapike […]

Tetulaba ku muntu eyekalakaasa- Poliisi

Ali Mivule

August 23rd, 2014

No comments

  Poliisi erabudde abagoba b’ebidduka obutetantala kutegeka kwekalakaasa ku monday eya wiiki ejja. Abagoba aba Taxi, boda Boda, wamu ne Loole balangirira okwekalakaasa nga bawakanya amateeka nga KCCA ku bidduka. Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agamba nti akeediimo kano tekannaba kukkirizibwa […]

Katikkiro mutaka e Bungereza

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mutaka mu ggwanga lya Bungereza  okwongera okusonda ettoffaali okuzimba Obuganda. Katikkiro wakwetaba mu mikolo egitegekeddwa abaganda ababeera eno eginabeeera wo olunaku olwenkya ku Makya . Olw’eggulo ate Katikkiro wakugendako mu muzannyo gwa ba Ebonies ogutegekeddwa mu mu ggwanga eryo […]

Abasabaaza abantu betemyeemu ku keediimo

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Abamu ku bagoba b’ebidduka mu kibuga bawakanyizza ekya banaabwe okwekalakaasa ku bbalaza  eya wiiki ejja. Abagoba ba taxi, loole , ne boda boda abeegattira  mu kibiina ekya National Union of Drivers, Cyclists and Allied workers abalangirira okwekalakaasa nga bawakanya amateeka amakakali ku bidduka agateekebwawo KCCA. […]

Teri kuddamu Kukkiriza babaka kwewola

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga, atabukidde ababaka ba palamenti ababadde bagufudde omuze okwewola ensimbi mu bank ez’enjawulo. Sipiika ategeezezza nga palamenti bw’etagenda kuddamu kweyimirira mubaka yenna ayagala okwewola ensimbi mu kisanja kino. Kadaga agambye nti ababaka bonna abaagala okwewola tebagenda kukkirizibwa kusinga yo musaala […]