Amawulire

Eggaali y’omukka- ababaka banonyereza

Ali Mivule

August 29th, 2014

No comments

Abamu ku babaka mu palamenti batonzeewo akakiiko akagenda okunonyereza ku nsimbi ezissiddwa mu kuzza obujja entambula yeggaali y’omukka Ku lw’okusatu, gavumenti yassa emikono ku ndagaano ne kkampuni yaba china eya China Harbour Engineering Company okukola ku ggaali y’omukka okuva e Malaba okutuuka e Kampala nga […]

Ebuuse okuva ku kizimbe waggulu

Ali Mivule

August 29th, 2014

No comments

Ebadde ntiisa ku ddwaliro e Mulago omusajja bw’abuuse okuva mu mwaliro gw’okuna ng’ayagala okwetta Kiddiridde omusajja ono okutegeezebwa nti alina obulwadde bwa mukenenya David Kinobe  nga aweza egy’obukulu 32 muvuzi wa Boda Boda e Mulago. Obuzibu nti omusajja ono amenyese magulu , tafudde Mwanyina w’omusajja […]

Cranes yesozze enkambi

Ali Mivule

August 29th, 2014

No comments

Tiimu  y’egwanga eya the Cranes eyingidde munkambi nga esuzibwaayo ku Sky Hotel olunaku lwa leero. Okusinziira kumwogezi wa team eno Fred Katende Malibu,ategezezza nga abazanyi abalala okuli Walusimbi Godfrey,Baba Kizito ne Ssentamu Yunus bwebegase ku team eno era Cranes esuubirwa okusitula ku Sunday eno okwolekera […]

Golola azannya nga mukaaga

Ali Mivule

August 29th, 2014

No comments

Empaka zomuzanyo gwensamba’ggere wakati wa Golola Moses n’omumerika Richard Abraham ezibadde ezokuzanyibwa leero,zongezedwaayo okutuuka nga 6th September,ye week ejja kulwomukaaga ku speak Resort Munyonyo. Okusinziira kukitunzi wa Moses Golola,omwami Lukas ategezezzanga nga bwebafunyemu okutataganyizibwa nebyentambula zomu’Merica Abraham wabula kumulundi guno wakutuuka mubudde era Tickets zakutundibwa mubifo […]

Kaliisoliiso alagidde ab’eby’enguudo bagobwe

Ali Mivule

August 29th, 2014

No comments

  Kaliisoliiso wa gavumenti alagidde ssentebe w’olukiiko olufuga ekitongole ky’ebyenguudo okuyimiriza mbagirawo abakungu b’ekitongole kino ab’okuntikko olw’ensimbi ezaaliibwa nga zaali zakuddabiriza luguudo lw’e Mukono okudda e Katosi n’ebitundu ebirala. Bano kuliko akulira ekitongole kino , Ssebuga Kimeze, akulira eby’ensimbi , Joe Ssemugooma, akulira eby’amateeka Marvin […]

Buganda terina ky’emanyi ku by’okufuna ebyaayo

Ali Mivule

August 29th, 2014

No comments

Obwakabaka bwa Buganda tebulina kyebumanyi ku nteekateeka za gavumenti okwongera okubuddiza ebyaabwo. Kino kiddiridde amawulire okutegeeza nga ssabawolereza wa gavumenti bweyamaze edda okusunsula ebyaapa ebirala 82 nga byakukwasibwa ab’emengo olwaleero. Minisita w’ebyamawulire  Denis Walusimbi agamba obwakabaka tebunatuukirirwa ku nsonga eno. Agamba singa bibaddizibwa bijja kwegatta […]

Okubala kuyingidde olw’okubiri- Sekandi bamubaze

Ali Mivule

August 29th, 2014

No comments

Okubala abantu kukyagenda maaso nga w’owulirira bino nga n’omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga  Edward Kiwanuka Sekandi amaze okubalibwa mu maka ge mu  zooni ya Kitunzi B e  Lungujja Ekibinja ky’ababazi 8 bakedde mu maka ga Ssekandi era zigenze okuwera ssaawa 2 ez’okumakya nga batuuse. Amanda Angella Namukasa […]

Okubala abantu-abalalu babigaanye, mu kampala batono ababaliddwa

Ali Mivule

August 28th, 2014

No comments

Olunaku olusoose okubala abantu lufundikiddwa kyokka nga tekubuzeemu bujogoli E Lyantonde abadde katemba , ababala nga bezooba n’abalalu abagaanye okubabala Bakedde bukeezi nga bulijjo kyokka bano olubatuseemu nebabuna emiwabo Atwala eby’emiwendo gy’abantu e Lyantonde Muhamad  Mwesigwa agamba nti kati basazeewo okudda ku balamu kubanga abalalu […]

Pulezidenti Museveni asisinkanye Kyabazinga omuggya

Ali Mivule

August 28th, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni asisinkanye Kyabazinga wa Busoga omuggya, William Nadiope Gabula  . Amuyozayoozezza okutuuka ku buwanguzi n’okumusaba atwaale ekitundu kya Busoga mu maaso. Gabula yalondeddwa ku bwa kyabazinga , abalangira 10 ku 11 abaatudde mu Lukiiko lwaabwe nga 23 omwezi guno. Gavumenti erudde nga teraga weeri […]

Eyatta mukyala we asibiddwa emyaka mukaaga

Ali Mivule

August 28th, 2014

No comments

Omusajja ow’emyaka 30 asindikiddwa mu kkomera yeebakeyo emyaka mukaaga lwakukuba mukyala we n’amutta Omulamuzi wa kkooti ya Cityhall Moses Nabenda y’asibye Katende lwkautta mukyala we Ruth Gasangaire n’amutta Omulamuzi agambye nti Katende yalina kukuuma mukyala kyokka ate kyewunyisa nti ate yeeyakuba mukyala we ebikonde ebyamuviirako […]