Amawulire

Akabondo ka NRM keekanasalawo ku bisiyaga-Museveni

Ali Mivule

August 2nd, 2014

No comments

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nga bw’agenda okwebuuza ku kabondo k’ababaka ba NRM ku nsalawo ya kkooti ku tteeka ly’ebisiyaga. Olunaku lwajjo abalamuzi 5 nga bakulembeddwa akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma, bonna bassiza kimu nti sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga teyalina buyinza kuyisa tteeka […]

Goonya mu kinaabiro

Ali Mivule

August 1st, 2014

No comments

Omusajja omuyindi agenze okunaaba n’asanga goonya eyakula mu kinaabiro atuyaanye nga bwezikala Kalpesh Patel agambye nti atunuulidde goonya eno amaanyi negamugwaamu nga tamanyi oba nnamu oba nfu kyokka agenze okulaba nga yenyeenya kwekukuba oluggi n’ateekako kakokola tondeka nyuma Ekyaalo kyekungaanyizza nebakwata goonya eno.

Sekabembe abuuse n’ekikomo

Ali Mivule

August 1st, 2014

No comments

Munnayuganda omukubi w’engumi, Mike Ssekabembe awanduse okuva mu mpaka za commonwealth games Kino kitegeeza nti omungereza Joe Joyce ayiseewo butereevu mu kulwanira zaabu nga kati yye ssekabembe afunye kikomo Sekabembe bamusuulidde ku mutendera gw’okukebera oba abazannyi tebalina wabaluma era Sekabembe okumukebera ng’omukono gwe gubaddeko obuzibu

Enkambi y’abalina Ebola

Ali Mivule

August 1st, 2014

No comments

Ng’eggwanga likyagenda mu maaso n’okwerinda ekirwade kye Ebola omusasi waffe Daina Wanyana aliseko mu ddwaliro e Mulago, okulaba engeri eddwaliro gyeletegesemu. Bw’otuuka ku nkambi eno yadde wasaawe bulungi, kirabika nti ddala tebaddeemu Muntu Amatundubaali amakadde geegakwaniriza n’olukomera lwa sengenge olwassibwaawo nalyo lukutuse Wabula omwogezi w’eddwaliro […]

Abayizi bayooleddwa

Ali Mivule

August 1st, 2014

No comments

Poliisi eyodde abayizi b’amattendekero agawaggulu abasoba mu 30 lwakwekalakaasa nga bagamba ensimbi ezibawolebwa okweyongerayo okusoma zamunyoto. Bano nga begatira mu kibiina kyaabwe ekibataba mu ggwanga, balumbye ofiisi za minisitule y’ebyenjigiriza nga bagamba engabanya y’ensimbi zino yakwatibwa bubi. Wano poliisi nga ekulembeddwamu  aduumira poliisi ya CPS  […]

Tebabaguza foomu okwewandiisa-Gavumenti

Ali Mivule

August 1st, 2014

No comments

Gavumenti etandise okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo abeezibika foomu z’okwewandiisa Kiddiridde foomu zino okubula ku ssaawa envanyuma nga kati abawandiisa batundantunde Atwaala enteekateeka y’okuwandiisa abantu gen Aronda Nyakairima agambye nti bakubisa foomu ezimala nga tekisoboka nti ziweddeyo Ono asabye omuntu yenna gwebaguza foomu okuwaaba mu […]

Abe Kireka bagenze mu palamenti

Ali Mivule

August 1st, 2014

No comments

Ekibinja ky’abantu abasengulwa ku luguudo lw’eggaali y’omukka e Kireka kyekubidde enduulu eri palamenti nga bagaala eyimirize eky’okubasengula. Ku ntandikwa ya ssabbiiti eno, KCCA yatandika okusengula abantu okuva mu luguudo lw’eggaali y’omukka mu bitundu bye Namuwongo, Ndeeba, Nalukolongo ne Kireka mu kawefube w’okwetegekera eggaali y’omukka enatambuza […]

Etteeka ku bisiyaga ligobeddwa

Ali Mivule

August 1st, 2014

No comments

Kooti etaputa seemateeka esazeewo nti etteeka eriwera ebisiyaga  lyayisibwa mu bukyamu. Abalamuzi 5 nga bakulembeddwaamu akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma, bonna bassizza kimu nti sipiika  Rebecca Kadaga teyalina buyinza kuyisa tteeka kubanga  palamenti teyalina babaka bamala. Abalamuzi era basazeewo nti ekikolwa kya sipiika kyamenya ssemateeka […]