Amawulire

Essomero eryayidde liggaddwa

Ali Mivule

August 4th, 2014

No comments

Ab’obuyinza e Masaka bagadde essomero lya St Jude Secondary School. Ebisulo bibiri byebyayidde nga n’abayizi abawera bazirise nga balabye omuliro guno. Akulira essomero lino Lukwago Mbaga bakkiriziganyizza okuggala essomero lino okusobozesa okunonyereza okugenda mu maaso Mbaga agamba nti munaana ku bayizi abasoba mu kkumi abazirise […]

Ekirevu kati sowaani

Ali Mivule

August 4th, 2014

No comments

. Mu kibuga San Fransciso , omusajja eyakuza ekirevu nga kati akifudde sowaani afuuse ekyelolerwa Isaiah Webb agamba nti mukyala we eyamuwa ekirowoozo yeeyamuwa amaanyi okukozesa ekirevu kye

Cranes ekomawo nkya

Ali Mivule

August 4th, 2014

No comments

Team yegwanga eya Cranes yakutuuka kuno olunaku lwenkya okuva mu ggwanga lya Mauritania gyeyawangulidde omupiira eggulo ku goal 1-0. Team eno yessozze ekibinja ekyokutaano omuli amawanga Ghana,Togo ne Guinea era kuno ekibiina ekikulembera omupiira gwa Africa ekya CAF kwekigenda okulonda teams wamu nebibinja ebirala ezinasamba […]

Abaafa mubookye- Liberia

Ali Mivule

August 4th, 2014

No comments

Gavumenti mu ggwanga lya Liberia eragidde nti abantu bonna abafa obulwadde bwa Ebola bookyebwe Kiddiridde abantu abasinga okugaana okwewala abafudde obulwadde buno ekibwongedde okubuna Mu ggwanga lya Nigeria nno era obulwadde buno butuuse nga waliwo omusawo abufunye Obulwadde bwa luno bwebwakasinga okuba obubi era nga […]

Odoki tasobola kubeera ssabalamuzi nate- Kkooti

Ali Mivule

August 4th, 2014

No comments

Benjamin Odoki eby’okuddamu okubeera Ssabalamuzi w’eggwanga abifuuye mu ngombe. Abalamuzi bana ku bataano mu kkooti etaputa ssemateeka basazeewo nti ono okuddamu okugonomolwako ogufo guno eba nsobi era Kulinyirira ssemateeka. Abalamuzi bano okuli  Solome Barungi Bbosa, Eldad Mwangusha, Lilian Tibatemwa ne  Remmy Kasule bonna bakkiriziganyizza nga […]

Abavubuka bayooleddwa

Ali Mivule

August 4th, 2014

No comments

  Poliisi ekedde kulwanagana n’abavubuka abakedde okugumba ku kibumbe ky’obwetwaaze wali ku speke road nga bemulugunya ku bbula ly’emirimu mu ggwanga. Bano babadde bakutte ebipande ebivumirira gavumenti gyebalumiriza obutabafaako. Abasoba mu 10 bakwatiddwa nga bano babadde bakaalakaala ne sanduke y’abafu nga bakumye n’ekyooto okukungunbaga Bino […]

Alidde evvu ly’omufu

Ali Mivule

August 2nd, 2014

No comments

Mu Alabama, omusajja enzaalwa ya America addukidde mu kkooti okuwaaba omubbi eyayingiridde amaka ge n’anuusa evvu lya mukyala we eyafa. . Phillip yaviibwaako mukyala we era nga bw’eri ennono y’abazungua bamu, nebamwokya evvu n’alitereka Wabula zaleese omubbi ng’ono olwalabye kku vvu lino n’alissa mu kappapula […]

Yiini essuuti y’abamanyi esswaga

Ali Mivule

August 2nd, 2014

No comments

Waliwo abakozi abawunikiriza ekibuga London, bwebakozi amasuuti eg’ekitundu olwo nebatandika okutambula mu kibuga ngabalumya abalabi. Bano bakoze obuwale bw’amasuuti bubakoma mu bisambi ate ngabubatipye, olwo nebalaga eswagga. Eyatunze amasuuti gano amaze wiiki bbiri ng’obwongo bumwesera  

Bannadiini balemedde ku nsonga ku bisiyaga

Ali Mivule

August 2nd, 2014

No comments

Bannadiini baweze okwongera okulwanyisa ebisiyaga wadde nga kooti ettaputa ssemateeka yasazeewo nti etteka ery’ebisiyaga lyayisibwa mu bukyaamu. Abalamuzi 5 nga bakulembeddwa akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma, bonna bassiza kimu nti sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga teyalina buyinza kuyisa tteeka kubanga  palamenti teyalina babaka bamala. Abalamuzi […]

KCCA emenye obuyumba obulala

Ali Mivule

August 2nd, 2014

No comments

Ekitongole kya Kampala capital city authority kisanyizzaawo obuyumba obwazimbibwa ku makubo okuva e e Bakuli okutuuka e Kasubi ku masiro  ne ku luguudo lwa Makerere hill road. Obuyumba obumenyeddwa kuliko amabaala, obuymba bwa chapatti, wamu n’obuyumba obulala. Ye atekeratekera ekitongole kya KCCA Joel Kiggwe agambye […]