Ebyemizannyo

Cranes ekomawo nkya

Ali Mivule

August 4th, 2014

No comments

cranes celebrate

Team yegwanga eya Cranes yakutuuka kuno olunaku lwenkya okuva mu ggwanga lya Mauritania gyeyawangulidde omupiira eggulo ku goal 1-0.

Team eno yessozze ekibinja ekyokutaano omuli amawanga Ghana,Togo ne Guinea era kuno ekibiina ekikulembera omupiira gwa Africa ekya CAF kwekigenda okulonda teams wamu nebibinja ebirala ezinasamba empaka za Africa cup of Nations mugwanga lya Morocco omwaka ogujja.