Amawulire

Gavumenti egonze ku bakulembeze b’ennono

Ali Mivule

August 8th, 2014

No comments

Gavumenti kyaddaki egonze ku nsonga z’abakulembeze b’ennono. Esazizzaamu ebbaluwa gyeyawandiise ng’eragira nti abakulembeze b’ennono bonna bawandukululwe , era mw’ekyo bawandiisibwe buto Minisita akola ku kikula ly’abantu, Mary Karooro Okurut agambye nti tebabadde na kigendererwa kyonna kyakusangulawo bakulembeze bonna. Minisita okwekuba engalike abadde amaze okusisinkana ababaka […]

Ababaka abavuganya babaguze- Wafula

Ali Mivule

August 8th, 2014

No comments

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Ogutu avumiridde ekya gavumenti okwongera okusaasanya omusimbi mu babaka ab’oludda oluvuganya gavumenti. Nga ayogerako ne bannamawulire olwaleero, Oguttu ategezezza nga bwewaliwo ababaka 18 ab’oludda oluvuganya abaafunye obukadde 110 okuva eri gavumenti okusasula amabanja agabali mu bulago. Agamba kino […]

Buganda ssi yakuzza byapa

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Obwakabaka ba Buganda buzzeemu okinogaanya nti ssibwakuzza byapabyogerwaako gavumenti Ssabawolereza wa gavumenti yawandiikira Mengo ng’agisaba okuzza ebyapa 13 ku byapa 213 nga bino bya ttaka erisangibwa e Kooki, Buruuli ne Bugerere Ssentebe w’ekitongole ky’ettaka mu Buganda, Kyewalabye Male agamba nti ebyapa bino bikyaali mu ngalo […]

Wuuno omwenzi

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Abantu abakola ebyewunyisa tebaggwa mu nsi. Omusajja enzaalwa ya Amerika akungaanyizza abakyala 200 n’abasaba bakkirize okwebaka naye mu kiseera kyekimu. Omusajja ono okuva mu ssaza lye Kalifoniya bino ebikutte ku katambi k’assizza ku mukutu gwa Youtube. Omusajja ono lw’asooka okusaba abakyala bano bonna bagaana

Amaggye gayingidde mu bya Ebola

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Amaggye mu ggwanga lya Liberia gataddewo emisanvu egikoma ku bantu okuva mu bifo ebikoseddwa obulwadde bwa Ebola okuyingira ekibuga ekikulu Monrovia Kiddiridde omukulembeze w’eggwanga lino Johnson Sirleaf okulangirira akaseera k’akatyabaga mu ggwanga lye Obulwadde bwa Ebola bwongedde okutabuka nga bwakatta abantu 930 mu mawanga g’obugwanjuba […]

Ababaka bongedde amaanyi mu tteeka ku bisiyaga

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Omuwendo gw’ababaka abassa emikono ku kiwandiiko ekisaba nti etteeka ku bisiyaga likomezebweewo mu palamenti gutuuse ku 172 Olukalala okukuumibwa omubaka we Kawempe mu bukiikakkono Latif Ssebaggala lulaga nti omubaka Florence Mutyabule y’asembye okussaako omukono. Ssebagala agamba nti musanyufu nti ababaka tebeganyizza kussa mikono ku kiwandiiko […]

China ssiyakusonyiwa bannayuganda

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Gavumenti ya China etegeezezza nga bw’etasobola kusazaamu byasalibwaawo kkooti ku bannayuganda abaakwatibwa n’enjaga. Omubaka w’eggwanga lino mu Uganda Zhao Yali agambye nti okukukusa ebiragala musango gwa maanyi mu mateeka ga China era nga teba kuttira Muntu ku liiso Omukulu ono agambye nti teri Muntu asangibw […]

Laddu esse omwana- eby’entambula bigotaanye

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Enkuba eyamaanyi etonnya mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu eriko b’erese nga bafumbya miyagi Ku kyaalo Namuwenje  n’emiriraano, abaayo tebasizza birime N’emiti gisiguse era nga gin awamu gigudde ku mayumba Abasinze okukosebwa kuliko Nabbaale, Nakifuma, Kyampisi ne Nama Enkuba eno era egootanyizza ebyentambula ng’awasinga nakati omugotteko […]

Abavubuka abeekalakaasa bazzeeyo e Luzira

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Abavubuka omwenda abavunanibwa okukuba olukungaana olumenya amateeka bongeddwawo ku alimanda e Luzira oluvanyuma lw’ababadde balina okubeyimirira obutalabikako. Bano kuliko Ferdinand Luutu, Amos Ojok, Oloya Akena, Ambrose Juma, Nasimbwa Nalongo, Joram Mwesigye, Robert Mayanja, ne Norman Tumuhimbise. Bano kati bakudda mu kkooti ya City hall nga […]

Aspirin akola ku kokoolo

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Okumira eddagala lya Aspirin okumala ebbanga eddene kiyamba okukendeeza ku bulabe bw’omuntu okufuna kokoolo w’ebyenda Mu ngeri yeemu era Aspirin ono ayamba ne ku kokoolo w’emimiro Abanonyereza bagamba nti omuntu bw’amira Aspirin okumala emyaka 10 kimuyamba obutafa kokoolo w’ebika ebyo okumala ebitundu 35 okutuukira ddala […]