Amawulire

China ssiyakusonyiwa bannayuganda

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

more to be executed

Gavumenti ya China etegeezezza nga bw’etasobola kusazaamu byasalibwaawo kkooti ku bannayuganda abaakwatibwa n’enjaga.

Omubaka w’eggwanga lino mu Uganda Zhao Yali agambye nti okukukusa ebiragala musango gwa maanyi mu mateeka ga China era nga teba kuttira Muntu ku liiso

Omukulu ono agambye nti teri Muntu asangibw an’enjaga n’asonyiyobwa kubanga abakikoze baba balina okusasula

Agamba nti omuntu yenna bw’asangibwa n’enjaga eweza gulaamu ataano aba asibwa emyaka 50 oba okuwanikibwa ku kalabba kyokka nga bannayuganda basangibwa n’enjaga ng’esukka mu kilo 15

Ono alabudde abavubuka okwewala okufuna okukemebwa kw’ekika kyonna okukusa enjaga kubanga akwatibwa amalira ku kalabba

Ono wabula agambye nti bakusigala nga bakolagana ne gavumenti ya wano ku ngeri y’okukwatamu emisango gino.

Yye minisita akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kuteesa agambye nti bakusigala nga basaba abantu okukoma okwetaba mu bikolwa ebimenya amateeka nga bali mu mawanga agatali gamu