Amawulire

Gavumenti egonze ku bakulembeze b’ennono

Ali Mivule

August 8th, 2014

No comments

BUganda caucus

Gavumenti kyaddaki egonze ku nsonga z’abakulembeze b’ennono.

Esazizzaamu ebbaluwa gyeyawandiise ng’eragira nti abakulembeze b’ennono bonna bawandukululwe , era mw’ekyo bawandiisibwe buto

Minisita akola ku kikula ly’abantu, Mary Karooro Okurut agambye nti tebabadde na kigendererwa kyonna kyakusangulawo bakulembeze bonna.

Minisita okwekuba engalike abadde amaze okusisinkana ababaka okuva mu kabondo ka Buganda abamutadde ku nninga okunyonyola lwaki bagaala okutankuula entalo.

Ababaka okubadde Betty Nambooze, Mohamed Nsereko, Deo Kiyingi, Nabila Nagai, Muwanga Kivumbi n’abalala basabye gavumenti byonna okubisazaamu okwewala emivuyo.

Bino byonna biva ku bbaluwa eyawandiikiddwa minisita Marooro Okurut ng’ayagala bakulembeze bonna baddemu okuwandiisibwa

Mu ngeri yeemu era waliwo abamu abalekeddwa amabega mu kulambika ani alina okussibwa ku lukalala