Amawulire

Nandos ne Mateos bigguddwaawo

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Ab’ekitongole ekiwooza ekya URA bakkirizza okuggulawo Mateos ne Nandos. Aba Mateos ne Nandos bakkirizza okusasula ebbanja mu misolo egibabanjibwa Mateos bajibanja obukadde 150 ate Nandos bagibanja obukadde 250. Omwogezi w’ekitongole kino, Allan Sempebwa agamba nti baludde nga babanja abaddukanya ebifo bino kyokka nga tebenyeenya

Emizimu gitabukidde abazimba oluguudo

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Aba China abagenze okusengula amaalo kibaweddeko emizimu bwegitisse bannanyini ttaka negirayira obutasengulwa Bino bibadde Nakigalala Kajjansi ab’ekitongole ky’enguudo ekya UNRA gyebali mu kukola oluguudo lwa Express highway. Emizimu giremesezza aba tulakita abazze okusenda okukkana ng’ebyooto bikumiddwa okugikkakkanya era nga tewali kusenda kugenze mu maaso. Bannayini […]

Amafuta amatabule

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Abatunda amafuta amatabule ku luno bubakeredde Okusinziira ku mateeka amapya, omuntu yenna anasangibwa n’amafuta amatabule wakusasula ebitundu 10 ku kikumi z’emaali ye Akulira ekitongole ekikola ku mutindo gw’ebintu Ben Manyindo agamba nti olw’amaanyi gebayongera ku nsalo, kati amafuta bagatabulira mu kkubo nga gali mu Uganda […]

Ow’emyaka 14 asingisiddw aogw’ettemu

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Omuvubuka ow’emyaka 14 yoomu kw’abo 5 abasingisiddwa omusango gw’okutemula mukama waabwe. Josephine Nalwadde yattibwa mu mwaka gwa 2012 mu bitundu bye Kamengo Mpigi. Abasingisiddwa omusango kuliko Jerevasio Kabagambe, John Muhigo, Jackson Kivumbi, John Musisi ne David Mwanje ow’emyaka 14. Mu nsalawo ye,Omulamuzi Jane Alividza agambye […]

Namukadde atabukidde abamubise

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Namukadde w’emyaka ekinaana, enviiri zimuvudde ku mutwe bw’afunye ebbaluwa okuva eri abagaba ez’obukadde nga eraga nti yafudde Omukyala ono Fulton ebbaluwa emutuuseeko nga wayise omwezi bukyanga ewandiikibwa Omukyala ono yecwacwanye n’ategeeza nga yye bw’ali omulamu yadde nga bafubye okumukkakkanya Kkampuni esoose kumwetondera ng’eddamu okumuwandiikira olwo […]

Bamussizza micungwa

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya South Africa abakozi batabuse nebatta omusajja nga bakozesa emicungwa Gwebakubye emicungwa abadde mukozi munaabwe nga bafunyeemu obutakkaanya Omusajja ono tabaddeko buvune bwonna nga poliisi egamba nti ntiisa y’emusse

Algeria eyimirizza emipiira

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Algeria eyimirizza okuzannya omupiira okumala ekiseera ekitali kigere oluvanyuma lw’okufa kw’omuzannyi wa Cameroun Albert Ebosse Kino kisaliddwaawo ekibiina ekitwala omupiira gw’ebigere mu ggwanga lya Algeria Ebosse, ow’emyaka 24 yakubiddwa ejinja ku mutwe n’afa bweyabadde ava ku kisaawe ng’eggwanga lye lisamba ne Algeria Ab’obuyinza mu Algeria […]

Ensimbi z’ababala abantu zongezeddwa

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Ab’ekitongole ekikola ku by’okubala abantu bagonze nebongeza ku bagenda okubala abantu ensimbi Kiddiridde abatendekebwa okubala abantu e Kawempe okuva mu mbeera nebeekalakaasa ssabbiiti ewedde nga bagamba nti enkumi essatu ezibaweebwa olunaku ntono nnyo Bano kati bakusasulwa shs 5000 ate bwebanamala okutendekebwa olunaku lw’enkya basasulwe enkumi […]

Poliyo asobola okutaayizibwa

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Okukozesa eddagala ly’ebika ebibiri erigema poliiyo kisobola okuyamba okutangirira ddala ekirwadde kino okukwata omuntu Okunonyereza okukoleddwa mu buyindi kulaga nti ssinga omwana aweebwa akadagala k’omu kamwa ate n’agattako empiso olwo agumira ddala nekitaba kyangu okufuna poliiyo Ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna kigamba nti ebizuuliddwa biwa […]

Abakweeka abalina Ebola bakusibwa emyaka 2

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Palamenti mu ggwanga lya Sierra Leone liyisizza etteeka erigufuula omusango omuntu okukweeka omulwadde wa Ebola Anakwatibwa wakusibwa emyaka 2 . Kati etteeka lino lisigalidde kussibwaako mukono gwa mukulembeze wa ggwanga Lyo eggwanga lya Ivory Coast liggadde ensalo zaalyo okwewala okufuna ekirwadde kino ekifuuse ensonga mu […]